TOP

Ttiimu bagikubye ne balangira omutendesi ebisiraani

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2019

Ttiimu bagikubye ne balangira omutendesi ebisiraani

Lop1 703x422

Bya Joseph Zziwa

Luka FC 0-2 Kikajjo United FC

Kategula FC 2-0 Busaabala Road FC

St Pius FC 1-0 Kibiri United FC

ABAWAGIZI bavudde mu mbeera ne balangira omutendesi okuba n’ekisiraani oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe okukubwa ka ttiimu kebaayise akanafu.

Gwabadde mupiira mu mpaka za Ssemuko Cup ogwazannyiddwa ku  kisaawe kya Masajja nga Luka FC emu ku ttimu ezitwalwa nga ezamaanyi yabadde ekyazizza Kikajjo United.

Gwabadde mupiira gwakubiri ogw’omuddiringanwa nga Luka FC ekubwa ekyaletedde abawagizi okulangira omutendesi waabwe Francis Kawuma okuba n’ekisiraani kuba yali mu ttiimu ya St Pius nga bagikuba kyokka bweyavaayo ekola bulungi atenga okuva lweyasala naggya mu Luka FC ebintu bitambula bubi.

Wabula ye Kawuma yategeezezza ng’abazannyi be bwebaamuswaza nga kati anoonya agula ttiimu waakiri asigale kuwagira buwagizi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal