TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Butema ewangudde liigi ya Zone One mu Buganda

Butema ewangudde liigi ya Zone One mu Buganda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2019

Bannabuyikwe bajaganya olwa ttiimu yaabwe eya Butema Soccer Masters okusitukira mu kikopo kya Zone One mu Buganda

Butemawebweb 703x422

Abazannyi ba Butema nga bajaganya n'ekikopo

Bya DRAKE SSENTONGO

TTIIMU ya Butema Soccer Masters okuva mu Buikwe, ewangudde ekikopo kya Zone One eya ligyoni ya Buganda, e Njeru.

Butema yavudde mabega okuyunga Kayunga United, omupiira ne guggwa ggoolo 1-1 mu ddakiika e 90, bwe baatuuse mu peneti era ne bawangula ne ggoolo 3-2.

Mini liigi eno yatandika ne kiraabu 16, era zonna zaafunye emipiira ebiri okuva ewa pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo, n'omuvujjirizi owa City Sports House. Butema ne Kayunga bo baabuseeyo n'emijoozi ssaako emiddaali.

Butema SM, omwava eyaliko kapiteeni wa Uganda Cranes,  kati erinze  kuzannya ne Mayirye FC, bakyampiyoni ba Zone Two, okufunako ayingira liigi ya Buganda.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba