TOP

Ente enattunka n'embwa mu gy'ebika

By Moses Kigongo

Added 6th June 2019

ENTE ewera kutomera Mbwa mu mpaka z’ebika bya Buganda mu kisaawe e Wankulukuku enkya ku Lwokutaano ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

Bya MOSES KIGONGO 

Mbwa vs Nte Lwakutaano e Wankuluku

Ssaawa 10:00 ez’akawungeezi

ENTE ewera kutomera Mbwa mu mpaka z’ebika bya Buganda mu kisaawe e Wankulukuku enkya ku  Lwokutaano ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

A’bente bakomyeewo mu nsiike nga banoonya buwanguzi bwokka okukakasa abawagizi baayo nti Engabo y’omwaka guno egyagala.

Ente yasoose kuwandula Balangira mu mpaka z’omulundi guno, bwe yabakubye ggoolo 1-0 eyateebedwa muyizzitasubwa waabwe Pius Wangi (ali mu SC Villa).

 “Twagala kuwangula Ngabo y’omwaka guno era tuli bamalirivu okuwandula buli ttiimu eneetusala mu maaso okutuusa nga tutuukirizza ekigendererwa kyaffe sizoni eno”,bwatyo maneja wa ttiimu eno Getrude Nakyanzi amannyidwa ennyo nga “Musawo  Geetu” bwe yategeezeza.

Ttiimu eno etendekebwa mu kisaawe ky’e Nsambya.

Ente y’emu ku ttiimu ezirina likodi y’okuwangula engabo emirundi ebbiri egy’omudiringanwa ekigifudde emu ku ttiimu ez’amaanyi.

Yagiwangula mu 2016 e Bugerere bwe yakuba Abalangira mu peneti 5-4 ne 2017 e Bulemeezi bwe yamegga Effumbe  ggoolo 1-0 eyateebwa Umar Kasumba ne yegatta ku ttiimu ng’Emmamba, Ngeye  n’Olugave abaakola ekintu kye kimu wakati wa 1964 ne 1965,  1991 ne 1992 ne 1998 ne 1999.

Embwa tewangulangako Ngabo kyokka ewera kuswaza Nte mu maaso g’abawagizi bayo abagigaya.

Mu ngeri y’emu Endiga yattunse n’EKinyomo mu gumu ku mipiira gy’oluzannya olw’okubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...