TOP

Andy Ruiz: Eyakubye Joshua yali ‘apoota’ ku bizimbe

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2019

OKUGGYAKO abooluganda, abako n’abeemikwano, teri yabadde asiba kinusu kye ku Andy Ruiz kumegga Anthony Joshua!

Ruiz1 703x422

Ruiz yakubye Joshua ekikonde ne kimusuula ku ttaka.

OKUGGYAKO abooluganda, abako n’abeemikwano, teri yabadde asiba kinusu kye ku Andy Ruiz kumegga Anthony Joshua!
 
Bano baagasimbaganye mu kikonde wakati mu nnamungi w’abawagizi abeeyiye mu kisaawe kya Madison Square Gardens mu kibuga New York mu Amerika.
 uiz ngakasukidde oshua ekikonde ku sande
 Ruiz ng’akasukidde Joshua ekikonde ku Ssande.
 
Wakati mu mizira, abamu ku baaliko bakafulu mu kuggunda eηηuumi okwabadde Mike Tyson, Floyd Mayweather, Oscar De La Hoya n’abalala, kkamera zaabalaze nga beewuunya ekikula ky’omusajja ayingidde emiguwa okuttunka ne Anthony Joshua nga tebasuubira nti asobola okukasuka eηηuumi erimu akazitowa, akasobola n’okulumya omuntu wa bulijjo. 
 
Kyokka ebyavudde mu lulwana luno, bakkirizza nti ‘obunene si buteesobola’.
 
 uiz ngajaganya okukuba oshua Ruiz ng’ajaganya okukuba Joshua
 
 
 
 
 

 

Ruiz yakubye Joshua ekikonde ‘tonziriranga’ ekyamusudde mu laawundi eyoomusanvu ku 12 ze baabadde balina okubbinkana era Ruiz yayingidde mu byafaayo ng’asoose okuwangula Joshua bukya atandika kuzannya bikonde.
 
Nga Joshua tannawanika, Ruiz yasoose kumusuula wansi emirundi 3 mu laawundi 6 ezaasoose.
 
Oluvannyuma Ruiz yakasuse eηηuumi eyabaddemu n’akawuuma, n’esuula Joshua ku ttaka, n’atandika okubuuza omutendesi we ekimutuseeko nti era lwaki ali ku ttaka.
 
Wano ddiifi ri Michael Griffi n yakomekkereza omuzannyi,ataase Joshua eyabadde awunze.
 
Ruiz yasitukidde mu misipi gy’ensi yonna ena okuli ogwa International Boxing Federation, International Boxing Organisation, World Boxing Association n’ogwa World Boxing Organisation, Joshua gy’abadde nagyo.
 
BAAKUDDING’ANA MU MYEZI 6
 
Enkambi zombi zaakkiriziganyizza wabeewo olulwana lw’okudding’ana mu November oba December.
 
Kyokka ng’enteeseganya zigenda mu maaso, Ruiz yabatunuulidde
akaga n’ategeeza nti wonna we banaamuddiza Joshua, ajja kumukuba amusiimuule mu bitabo by’abazannyi b’ebikonde.
 
YE MU MEXICO ASOOSE OKUKUBA KYAMPIYONI WA ‘HEAVY’
Obuwanguzi bwe yafunye, bwamufudde omuggunzi w’eηηuumi enzaalwa ya Mexico asoose okufuuka kyampiyoni w’ensi yonna mu buzito bwa ‘Heavy’.
 
Wadde Mexico y’emu ku nsi ezireeta abaggunzi b’eηηuumi abalungi kyokka basinze
kwatiikirira mu kuwangula misipi gya buzito obwa wansi okuli obwa ‘Welter’, Middle, ne Light.
 
YASINDISE OBUBAKA ERI TRUMP
 
Ruiz okuwangula Joshua kyayambye Mexico okwetikka amawulire mu nsi yonna era Palamenti yaakumugatta ku bazira b’eggwanga.
 
Ng’olulwana lwakaggwa, Ruiz yategeezezza nti yakubye Joshua atere asindike obubaka eri Dornald Trump, Pulezidenti wa Amerika, akomye okuyisaamu amaaso bannansi banne ate aggyewo n’ekirowoozo eky’okuzimba ekisenge ekyawula Amerika
ne Mexico.
 
 
Ruiz agamba nti kino Trump ky’ayagala okukola, kisosola mu bantu  okwetooloola ensi yonna.
 
Kino Palamenti ya Mexico yakitapuse kuba na mutima gwa ggwanga era yaakuwa Ruiz omudaali gwa ‘Mexica Presidential Freedom Award’, oguweebwa abazira b’eggwanga.
 
 
 
 
 
 
AMERIKA YAGIFUULA KATTIRO
Mu nnwaana 33 z’alina, yaakakubwamu lumu lwokka. Mu Amerika, Ruiz yaakazannyirayo ennwaana 30 era zonna aziwangudde.
 
Ennwaana 32 ze yaakawangula, 22 aziwangudde akubye ekikonde ‘tonziriranga’.
 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba