TOP

Chelsea eri mu kattu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

Essaawa yonna Sarri abadde agitendeka yandigenda mu Juventus era bayigga ayinza kumusikira

Sarri2 703x422

Sarri, atendeka Chelsea

OMUGAGGA nnannyini Chelsea, Roman Abramovich, ategeezezza nti kooci yenna, anaaba mu mitambo gya ttiimu eno sizoni ejja, amwetaaza kugiyamba okumalira mu ttiimu ennya ezisooka mu Premier.


Mu kiseera kino, Chelsea enoonya mutendesi anaasikira Maurizio Sarri agitendeka kyokka ng'alabise okwegatta ku Juventus. Abawagizi baayo, baagala Frank Lampard kyokka ono akyali mutendesi wa Derby County, ezannyira mu kibinja kya Championship. Wabula abakungu ba Chelsea abalala, amaaso bagatunuzza ne ku; Max Allegri abadde mu Juventus, Erik ten Hag owa Ajax kyokka era waliwo abagamba nti waakiri bakomyewo Jose Mourinho.


Wabula yenna gwe banaaleeta, omugagga Abramovich amwagaza kukola bulungi naddala okuyamba Chelsea, okumalira mu ttiimu ezizannya mu Champions League.

Sarri, 60, yawangudde ekikopo kya Europa kyokka Chelsea yamaze dda okutunda Eden Hazard wadde nga yo, baagissaako ekkoligo ly’obutagula bazannyi. Wadde nga yeetegese okujulira, omutendesi yenna anaaba aliwo asuubirwa nnyo okwesigama ku bazannyi abaliwo okufunira ttiimu ye obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze