TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Lady Doves sizoni egisaze era eviriddemu awo

Lady Doves sizoni egisaze era eviriddemu awo

By Stephen Mayamba

Added 11th June 2019

Ttiimu ya Lady Doves, ey'omupiira gw'abakazi, sizoni gye yali yeesuunze okufuukiramu 'nnaalongo' egisalidde ddala

Makerereweb 703x422

Abazannyi ba She Mak nga bajaganya n'ekikopo

Lady Doves 2-0 She Mak FC

Bagamba nti kyotannalya tokyesunga. Sizoni eno we yatandikira ng’abazannyi n’abawagizi ba ttiimu ya Lady Doves, ttiimu y’abakazi ey’omupiira, beesunga kuwangula ebikopo bibiri (2) bafuuke ba  ‘nnaalongo’.

Bano baasooka kuggyibwa mu kikopo kya liigi y’omupiira gw’abakazi,  bwe baakubwa UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0, ku fayinolo y’akakung'unta aka FUFA Women Elite League, ne basigala nga basuubira nti wadde obwa ‘nnaalongo’ bubalemye, banabuukayo n’ekikopo sizoni eno.

 hadia ankya omuzibizi wa ganda artytrs ne rested ranes ye yasinze abateebi Shadia Nankya, omuzibizi wa Uganda Martytrs ne Crested Cranes, ye yasinze abateebi

 

Ku Lwomukaaga, ttiimu ya She Mak  essuubi  lino yalimazeewo, bwe yabakubidde ku fayinolo ya FUFA Women Cup, ggoolo 2-0,  n'ebatwalako ekikopo. Ggoolo ya Jemima Twesigye, eyabadde eya peneti mu kitundu ekisooka, n’eyakyeteeba eya Gladyc Nakitto, ze zannyogozza abawagizi ba Lady Doves ey’ e Masindi.

 mina ababi owa he ak omuzannyi eyasinze mu mpaka za  omens up Amina Nababi owa She Mak omuzannyi eyasinze mu mpaka za FUFA Women's Cup

 

Kapiteeni wa Uganda Martyrs era omuzibizi wa Crested Cranes, Shadia Nankya ye yanywedde mu banne ekendo mu kulengera akatimba, ne ggoolo musanvu,  Amina Nababi, omuwuwuttanyi wa She Mak, n’alondebwa  ku ky’omuzannyi asinze banne, ate eky’omukwasi wa ggoolo ne kiweebwa Vanessa Karungi owa She Corporates.

Bakyampiyoni bafunye 3,000,000/- ate Lady Doves n’efuna  2,000,000/-. Ebirabo ebyaweereddwa abawanguzi ssekinnoomu, byagendeddeko emitwalo 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba