TOP

Lufula FC ekyabinuka lwa kwesogga liigi ya Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

TTiimu ya Lufula FC yawangudde Mustungs FC ne yeesogga liigi ya Kampala

Lufulaweb 703x422

Abazannyi ba Lufula, abaatandise omupiira ogwasembyeyo mu liigi y'ekibinja ekyokuna. Lufula yawangudde Mustungs FC ggoolo 1-0 ne yeesogga liigi ya Kampala Ligyoni

Bya Tom Lubulwa

Nabweru United FC 2-3 Super Heroes FC

Lufula FC 1 - 0 Mustungs FC.

Abasambi n’abawagizi ba Lufula bakyabinuka masejjere oluvannyuma lw’okwesoga liigi ya Kampala Ligyoni. Ggoolo eyabawadde essanyu yazze omupiira gugenda kuggwa.

Baabadde ku kisaawe e Kanyanya, mu gumu ku mipiira egyakomekkerezza liigi y’ekibinja ekyokuna mu divizoni y’e Kawempe.

 atrick ukiibi ku kkono owa ufula  ngasiba omupiira mu maaso ga erald gweno Patrick Mukiibi (ku kkono), owa Lufula, ng'asiba omupiira mu maaso ga Gerald Ogweno

 

Omupiira Mustungs yagutandise na nnumba ez’okumukumu, kyokka ne balemwa okukuteeba. Ekitundu ekisooka kyakomekkerezeddwa nga tewali alina ggoolo, wabula ng’ebula eddakiika 10,  Lufula n’efuna ggoolo eyamaze eggobe mu kibya.

Lufula yazze mu mupiira guno ng’enoonya buwanguzi bwokka, nga singa bakubwa, ate Heroes n’ewangula,  baandibadde mu maziga. Lufula yamalidde ku  bubonero 74 ate Heroes 73.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.