TOP

She Mak ekamirwa bina

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2019

She Mak ekamirwa bina

Kip2 703x422

Doves 0-2 She Mak FC Bagamba nti ky'otonnalya tokyesunga. Sizoni eno we yatandikira ng’abazannyi n’abawagizi ba ttiimu ya Lady Doves, ttiimu y’abakazi ey’omupiira, beesunga kuwangula bikopo bibiri (2) bafuuke ba ‘nnaalongoby’.

Bano baasooka kuggyibwa mu kikopo kya liigi y’omupiira gw’abakazi, bwe baakubwa UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0 ku fayinolo y’akakungunta aka FUFA Women Elite, ne basigala nga basuubira nti wadde obwa ‘nnaalongo’ bubalemye, banaabukayo n’ekikopo sizoni eno.

Ku Lwomukaaga, ttiimu ya She Mak essuubi lino yalimazeewo bwe yabakubidde ku fayinolo ya FUFA Women Cup, ggoolo 2-0, ne batwalako ekikopo. Ggoolo ya Jemima Twesigye, eyabadde eya peneti mu kitundu ekisooka n’eyakyeteeba eya Gladyc Nakitto, ze zannyogozza abawagizi ba Lady Doves ey’ e Masindi.

Kapiteeni wa Uganda Martyrs era omuzibizi wa Crested Cranes, Shadia Nankya ye yanywedde mu banne akendo mu kulengera akatimba, ne ggoolo musanvu, Amina Nababi, omuwuwuttanyi wa She Mak, n’alondebwa ky’omuzannyi asinze banne ate eky’omukwasi wa ggoolo ne kiweebwa Vanessa Karungi owa She Corporates.

Bakyampiyoni bafunye obukadde 3,000,000/- ate Lady Doves n’efuna 2,000,000/-. Ebirabo ebyaweereddwa abawanguzi sekinnoomu, kyagendeddeko emitwalo 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba