TOP

EKIBINJA C: Senegal yeesize Mane etwale ku kikopo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2019

EMPAKA za Afrika ez'omulundi guno za 32 bukya zitandikibwawo mu 1957. FRED KISEKKA akuleetedde ekibinja C omuli; Senegal, Algeria, Kenya ne Tanzania;

Mane1 703x422

Mane

EMPAKA za Afrika ez'omulundi guno za 32 bukya zitandikibwawo mu 1957. FRED KISEKKA akuleetedde ekibinja C omuli; Senegal, Algeria, Kenya ne Tanzania;
 
SENEGAL
Beeyita ‘The Lions of Teranga’ ekitegeeza 'empologoma ez’eddembe'. Batendekebwa Aliou Cisse omu ku baaliko bassita baayo era abaagiyamba okutuuka
ku 'quarter' ya World Cup mu 2002.
 
Sadio Mane ssita wa Liverpool ye kapiteeni. Guno mulundi gwa 15 nga Senegal yeetaba mu mpaka za Afrika kyokka tekiwangulangako ng'ekinene kye baali bakoze kwe kutuuka ku fayinolo mu 2002, Cameroon n'ebakuba.
 
BASIBIDDE KU SADIO MANE
Senegal ereese bassita abawera wabula basinze kwesiga Mane. Mane abadde ku ffoomu mu Liverpool ne bawangula Champions League ate mu Premier, y'omu
ku baasinze ggoolo (22).
 

 

Mane yaakazannyira Senegal emipiira 60 ne ggoolo 16. Bassita abalala abaayitiddwa
kuliko; Kalidou Koulibaly (Napoli, Yitale), Alfred Ndiaye (Malaga, ), Keita Balde (Inter Milan) n'abalala.
 
Senegal yaakuggulawo ng’ettunka ne Tanzania nga June 23, ezzeeko Algeria June 27 esembyeyo Kenya.
 
ALGERIA
Baakazibwako lya ‘The Desert Foxes’ ekitegeeza 'ebibe by’omu ddungu'. Batendekebwa munnansi Djamel Belmadi. Ggoolokipa Rais M'Bolhi 33 ye kapiteeni era
yaakazannyira Algeria emipiira 58.
 
Guno mulundi gwa 18 nga Algeria yeetaba mu mpaka zino. Mu kibinja kino, ye yokka eyali ewangudde ku kikopo kya Afrika bwe baakuba Nigeria 1-0 ku fayinolo mu 1990.
 
BASIBIDDE KU MAHREZ
Wadde Algeria erina ba ssita nga Sofi ane Feghouli, Yacine Brahimi azannyira mu FC Porto, baakwesigama nnyo ku ssita wa Man City, Rihad Mahrez.
 
Mahrez alina ebirungo ebyenjawulo, asobola okusala n’aggyako abazibizi ate mulungi mu kukuba ‘free kick’ n’okusaza emipiira emizibu mu ntabwe y’omulabe.
 
Sizoni ewedde, Mahrez yateebedde Man City ggoolo 12 mu mipiira 44 gye yazannye.Yaakateebera Algeria ggoolo 10 mu mipiira 43.
 
Bassita balala abali ku ttiimu;
Hicham Boudaoui azannyira mu Paradou FC ey'awaka, n’omuteebi Youcef Belaili owa Esperance eya Tunisia. Belaili yabadde musaale mu kuyamba Esparance mu mpaka za CAF Champions League sizoni ewedde bwe yateebye ggoolo yokka mu gw’okudding'ana nga battunse ne Wydad Casablanca eya Morocco ku fayinolo wabula
bagenda kugiddamu olwa CAF okusazaamu ebyaguvuddemu.
 
Algeria eggulawo ne Kenya June nga 23, ezzeeko Senegal June 27 olwo esembyeeyo Tanzania mu gy’ebibinja nga July 1.
 
KENYA
Bakomyewo mu AFCON oluvannyuma lw’emyaka 15. Baasemba kwetaba mu za 2004.
Beeyita lya Harambe Stars ekitegeeza ttiimu eyawamu.
 
Kapiteeni waabwe ye Victor Wanyama azannyira mu Spurs eya Bungereza. Batendekebwa Sebastien Migne enzaalwa ya Bufalansa.
 

 

KENYA ERINA WIINI EMU MU AFCON
Guno mulundi gwamukaaga nga Kenya yeetaba mu mpaka za AFCON kyokka ku mirundi 5 Kenya gye yeetabyemu, yaakawangula omupiira gumu era ku luno eyagala
kuwangula egiwera. Basibidde ku Victor Wanyama azannyira mu Spurs. Wanyama yaakazannyira Kenya emipiira 52 ne ggoolo 5.
 
TANZANIA
Mulundi gwakubiri nga beetaba mu mpaka zino. Baasooka kwetaba mu za 1980.  Baakazibwako lya Taifa Stars. Batendekebwa Emmanuel Amunike enzaalwa ya Nigeria.
Mbwana Samata ye kapiteeni waabwe.
 
BANOONYA WIINI ESOOKA
Mu 1980 lwe baaliyo, tebaawangulayo mupiira na gumu era ku luno bakomyewo waakiri bafuneyo wiini. Tanzania esibidde ku Mbwana Samata kapiteeni waabwe, azannyira mu Genk eya Belgium.
 
Samata abadde musaale mu kuyambako Genk okuwangula liigi nga yateebye ggoolo 20 mu mipiira 30. Tanzania, yaakagiteebera ggoolo 17 mu mipiira 45.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...