TOP

Ey'abawala egenda Bulaaya

By Stephen Mayamba

Added 14th June 2019

TTIIMU ya Uganda ey’abawala egenda Bulaaya, oluvannyuma lw’okusitukira mu mpaka z’omupiira gw’abakazi eza 'Castle Africa 5', mu Afrika.

Bawala 703x422

Abazannyi nga bajaganya.

Bya STEPHEN MAYAMBA
 
TTIIMU ya Uganda ey’abawala egenda Bulaaya, oluvannyuma lw’okusitukira mu mpaka z’omupiira gw’abakazi eza 'Castle Africa 5', mu Afrika.
 
Empaka zino, ezaakomekkerezeddwa mu kibuga Dar-es- Salaam ku wiikendi ewedde, zeetabiddwamu amawanga mukaaga okwabadde Uganda, South Africa, Zambia, Ghana, ne Swaziland, n'Abatanzania abaawandiisizza ttimu bbiri.
 
Zibeerawo buli mwaka n'ekigendererwa ky'okuddiza bakasitoma ba kkampuni ya Castle, abasogozi ba bbiya.
 
Zimaze emyaka esatu nga zizannyibwa, wabula guno gwe mulundi ogusoose ttiimu z'abawala okuzeetabamu.
 
Okutuuka ku buwanguzi, Uganda yakubye bannyinimu (Tanzania) ggoolo 1-0, ku fayinolo, nga yateebeddwa Memory Nampijja.
 
Eyali ssita wa ttiimu y’eggwanga eya Cameroon ne Barcelona, Samule Eto’o, era nga y'akola ng'omubaka w’empaka zino, ye yakwasizza abawanguzi ekikopo, sso ng'era y'agenda okubalambuza ekisaawe kya Barcelona ekya Camp Nou ekisangibwa mu Spain.
 
Ttiimu eno yayitibwa buyitibwa okwetaba mu mpaka zino, ezaayindidde ku National Stadium mu Tanzania, okumala ennaku bbiri.
 
Abazannyi abalala abaagibaddemu ye; Vanessa Karungi, Wilmer Nantumbwe, Sarah Namulindwa, Brenda Makanga, bonna aba She Corporates, ne Bridget Nabisaalu
owa Ajax Queens, zombi ezizannyira mu liigi ya FUFA ey'abakazi 'FUFA Women Elite League'.
 
Ey'abalenzi yakomye ku quarter kwe yakubiddwa Zambia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...