TOP
  • Home
  • Mupiira
  • NCS ekakasizza Dr. Ogwel ku bwassabawandiisi-

NCS ekakasizza Dr. Ogwel ku bwassabawandiisi-

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2019

Dr. Ogwel yayise mu kakung'uunta era yamezze abantu abalala 5.

Drogwel1 703x422

Dr Ogwel

OLUKIIKO olw’oku ntikko olw'akakiiko akatwala emizannyo mu ggwangaa aka NCS (National Council of Sports)  luyisizza Dr. Patrick Ogwel nga Ssaabawandiisi waalwo omujjuvu.


Ogwel, yamazze banne bataano bwe babadde bavuganya kyokka ng’akakung’unta akaasooka keetabwamu abantu abasoba mu 30. Okusalawo okwenkomeredde kwakoleddwa ssentebe wa NCS, Bosco Onyik nga ke kaayisizza Ogwel oluvannyuma lw’okubeera n’ebisaanyizo ebyabadde byetaagisa.


Abalala abaabadde mu lwokaano kuliko; Jamir Ssewanyana akulira ekisaawe ky’e Namboole, eyaliko ddiifiri Catherine Adipo ne Dr. Mwakana.


Ogwel yategeezezza nti musanyufu kuba Katonda gwe yawanzeeko eddusu n’asuubiza okukola buteebalira ayambe emizannyo okukulaakulana. Ebimu ku bisaanyizo ebyabadde byetaagisa kuliko; okuba ne ddiguli ebbiri eya ‘Masters in Management’, ebbaluwa mu bukulembeze bw’emizannyo. Ogwel asikidde Nicholas Muramagi amaze akabanga nga mulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...