TOP

Atendeka Arsenal ali ku puleesa

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2019

Abakungu ba Arsenal baagala beggyeko bassita abamu bafune ku nsimbi

Ozil11 703x422

ozil

OMUTENDESI wa Arsenal, Unai Emery ali ku puleesa, y’okutunda  abamu ku bassita baayo, ttiimu ereme kugenda mu loosi.


Arsenal, si yaakuzannya Champions League sizoni ejja era kigambibwa nti abakungu baayo baawadde Emery obukadde bwa pawundi 45 mw’aba yeetetenkanyiza mu kugula abazannyi mu katale kano akayinda. Kyokka kigambibwa nti erinayo ebbanja ly’obukadde bwa pawundi 50 ery’omusolo era abakungu ba ttiimu bagamba nti obutafiirizibwa, erina kutunda bassita abamu efune ku nsimbi.


Mu sizoni ya Arsene Wenger eyasemba ng’atendeka Arsenal, yatunda abazannyi okuli; Alex Oxlade-Chamberlain, Theo Walcott ne Olivier Giroud n’agula Pierre-Emerick Aubameyang ne Alexandre Lacazette kyokka ku luno eviiriddwaako Aaron Ramsey, Petr Cech ne Danny Welbeck wabula nga bo bagendedde ku bwereere.


Wano abamu we batandikidde okugamba omutendesi Emery atunde Mesut Ozil bamufunemu ensimbi kuba ne sizoni ewedde, abadde ayaka ku mipiira gimu na gimu. Ozil, y’asinga okusasulwa mu Arsenal ku pawundi 350,000 buli wiiki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...