TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Buganda yeesasuzza Ankole mu mpaka za FUFA Drum

Buganda yeesasuzza Ankole mu mpaka za FUFA Drum

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Pulovinsi ya Buganda yeesasuzza eya Ankole bw'egiwangudde ggoolo 2-0, mu mpaka za FUFA Drum

Bugandawebweb 703x422

Kapiteeni wa Buganda, Viane Ssekajugo, ng'asiba omupiira mu maaso ga Charles Musiige owa Ankole

Bya DRAKE SSENTONGO
 
Ankole    0-2 Buganda
Sebei       0-2 Lango
Kampala  1-0 Busoga
Rwenzori 1-1 Tooro
Karamoj  1-0 Bunyoro
Acholi      0-1 West Nile
Kigezi      2-0 Teso
Bugisu     2-3 Bukedi

PULOVINSI ya Buganda yeesasuzza Ankole bwe yagikubye ggoolo 2-0 mu mpaka za FUFA Drum, mu kisaawe ky’e Kakyeka e Mbarara, ku Ssande.

Ttiimu zombi zaabadde zidding’anye mu luzannya olwokubiri mu kibinja B, mwe bali ne Lango ssaako Sebei.  Mu luzannya olwasooka, Ankole yalumba Buganda omwayo e Mityana, n'egikuba ggoolo (1-0).

Paul Ssekulima, eyaleeteddwa nga sabusityuti ye yateebedde Buganda ggoolo esooka mu ddakiika ey’e  66, sso ng’era ye yawangudde  n'ekirabo ky'omuzannyi eyasukkulumye ku banne. Ggoolo eyookubiri yabadde ya peneti, nga yateebeddwa Robert Ssentongo oluvannyuma lwa ggoolokkipa wa Ankole, Muhammad Ssekeba, akukola ekisobyo ku Baker Buyala mu ntabwe.

Kati bakyampiyoni b'empaka zino ab’omwaka oguwedde (Buganda) bali mu kifo kyakubiri nga beenkanya obubonero (9) ne Lango ekulembedde ekibinja.

Empaka ziddamu ku Lwamukaaga nga Buganda ekyalira Lango mu kibuga Lira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...

Kibwa0 220x290

Ab'e Katooke beegugunze ne baziba...

ABATUUZE b'e Nabweru mu Kibwa beegugunze ne baziba oluguudo lw'e Katooke - Kibwa nga balaga obutali bumativu olw'embeera...

Yokya 220x290

Ajereze omukazi n’anyiiga n’amuyiira...

POLIISI ekutte omukazi agambibwa okwokya mukwano gwe olweje oluvannyuma lw’okumujerega.

Muzaata 220x290

Ensi egudde eddalu! Muzaata afuuka...

SHEIKH Muzaata baamuyise kulya n’adda mu kubala abaana! Mu kugenda ku mukolo gw’okukyaza abako, eyandikulembeddemu...