TOP

'Okukotoggera abaana mu mizannyo kuba kuziika ttalanta zaabwe'

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Ennyumba ya Muteesa yeetisse ez'emizannyo mu Ndejje SS

Kikopoweb 703x422

Patrick Kanyomozi, owa USPA (ku kkono) ng'akwasa ab'ennyumba ya Muteesa ekikopo

Bya Samuel Kanyike           

PULEZIDENTI w'ekibiina kya bannamawulire abasaka ag’emizannyo ekya Uganda Sports Press Association, Patrick Kanyomozi asabye abasomesa n'abazadde obutakotoggera baana baabwe nga babakugira okwenyigira mu by'emizannyo,  kuba baba baziika ttalanta zaabwe.

Yasiinzidde ku ssomero lya Ndejje SS, mu Luweero, mu mpaka z'emizannyo, n'agamba nti mu nsi nga Uganda awatali akademi za mizannyo,  amasomero ge gayamba okukulaakulanya ttalanta, n'asaba n’abayizi obutasuulirira bitone.

Yagambye nti emizannyo tegikosa kusoma wabula okwongera ebinnonoggo ku muyizi kuba bannabyamizannyo bangi nga ba dokita, balooya n'abasuubuzi abayoola ensimbi.

Muteesa ye yawangudde empaka zino n'eweebwa ekikopo ne sseddume w'ente, n'eddirirwa Muyingo eyaweereddwa ekikopo ne kimeeme w'embuzi.

Omukulu w'essomero lya Ndejje SS, Dr. Charles Kahigiriza, yategeezezza nti essomero lino lifutiza amalala mu ggwanga mu basketball, cricket n'emizannyo emirala, era nti bakkiriza abaana okukulaakulanya ttalanta zaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.