TOP

UWA ne FUFA banaatumbula ebyobulambuzi

By Stephen Mayamba

Added 21st June 2019

Endagaano eno yatongozeddwa ku kitebe kya FUFA ku Lwokuna era nga yakumala omwaka gumu.

Uwa 703x422

Mugoya ne Ajarova (ku ddyo) nga bawanyisiganya endagaano.

Bya STEPHEN MAYAMBA 

FUFA eyiiseemu kavu wa bukadde 200 bw'ekoze endagaano n’ekitongole ekivunaanyizibwa okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board okukozesa omupiira okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga. 

Endagaano eno yatongozeddwa ku kitebe kya FUFA ku Lwokuna era nga yakumala omwaka gumu.

UTB egenda kukozesa Uganda Cranes n’empaka z’omupiira endala ng'eza The FUFA Drum ezizannyibwa pulovinsi za Uganda ez’enjawulo okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga n’ebweru walyo. 

Ng’ayanjula enkolagana eno Justus Mugisha omumyuka wa pulezidenti wa FUFA asooka yeewanye nategeeza nti ekitongole kya gavumenti okuvaayo ne kibasaamu obwesige okukolagana nabo kiraga obwesige n’okusiima emirimu gye bakola.

Akulira emirimu mu UTB, Lily Ajarova yategeezezza nti bagaala okukozesa ettuttumu okutumbula eby’obulambuzi mu Uganda munda mu ggwanga n’ebweru. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...