TOP

Yesu Amala basitukidde mu za Ludo

By Silvano Kibuuka

Added 23rd June 2019

Yesu Amala basitukidde mu za Ludo

Lud1 703x422

Abaawangudde Ludo mu Wakiso:

Yesu Amala 1 – 0 Namusera Main

Ttiimu ya Yesu Amala e Nansana yeerisizza nkuuli mu mpaka za Ludo ezitegekeddwa ekibiina kya Public Health Ambassadors of Uganda (PHAU).

Ekibiina kino eky’obwannakyewa kibadde kiddukanya kampeyini y’okulwanyisa akawuka ka mukenenya nga kiyitira mu bavuzi ba Boda Boda n’abazannyi ba Ludo mu Wakiso naddala ekitundu kye Nansana.

Kiraabu za Ludo 28 ze zeetabye mu mpaka zino ez’olunaku olumu nga zibumbujjidde ku kisaawe kye Kayunga mu Wakiso.

Abazannyi ba Ludo, aba Boda Boda n’abatuuze mu kitundu bakebeddwa akawuka ka mukenenya, okugaba omusaayi wamu n’abasajja okukomolwa ku bwereere.

“Tuyitidde mu mizannyo naddala ogwa Ludo awamu ne Boda Boda kubanga byombi bijjumbirwa nnyo baddala abavubuka. Pulogulaamu eno eyambye nnyo okutumbula eby’obulamu mu kitundu kino”, John Musinguzi akulira PHAU bw’ategeezezza.

Yesuamala bakwasiddwa ekikopo era nga ttiimu mukaaga ezikulembedde ziweereddwa ekisaawe kya Ludo, enkofiira y’abavuzi ba pikipiki, amafuta lita 5, emijoozi n’obukooti obumasamasa omuvugirwa Boda Boda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...