TOP

Emmamba ya Kakoboza ewandudde engabi ensamba mu z'ebika

By Moses Kigongo

Added 23rd June 2019

Emmamba ya Kakoboza ewandudde engabi ensamba mu z'ebika

Mba1 703x422

Kakoboza 1(5)-(3)1 Ngabi Nsamba

Lwakubiri e Wankuluku 10:00 

Ngonge ne Ngabi Nnyunga

ABAWAGIZI ba ttiimu y’Engabi Ensamba banyogogedde mu kisaawe e Wankulukuku oluvanyuma lwa ttiimu y’Emmamba Kakoboza okubawandula mu mpaka z’omulundi guno.

Bino byabade mu mpaka ze  Bika bya Buganda mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwokutaano akawungeezi oluvanyuma lwa Kakoboza okuwangula Engabi Ensamba mu kakodyo kokusimulagana peneti ku ggoolo 5-3.

Embeera eno yalese abawagizi be Ngabi okwabade nanyinini ssomro lya Buddo S.S Lawrence Muwonge nga banyogogedde mu butebe mwe babade bagirira ttiimu yaabwe kyokka ng’eno aba Kakoboza(abaleese bandi ku kisaawe) bacacanca n’okuyimba ennyimba ezisusuuta abazannyi babwe.

Kakoboza kati yakuttunka n’Ekinyomo ku luzannya lwa ttiimu 16 era nga ttiimu zombi zakuzannyira mu kakodyo k’okudingana(home and away basis).

Mungeri y’emu ttiimu y’abazzukulu ba Gabunga ab’e Mmamba Namakaka bakyasobedwa olw’ebbula ly’ensimbi z’okwetegekera Enjovu gye bagenda okuttunka nayo ku luzannya olw’okubiri( olwa ttiimu 16).Bano bawalirizidwa okuyimiriza okutendekebwa kwe babade bakolera ku kisaawe kya Old Kampala nga bagamba nti tebalina ssente z’okupangisa ekisaawe kino wamu n’ezentambula y’abazannyi  okusinziira ku mutendesi wabwe Cyrus Nsubuga.

Empaka zino zikyagenda mu maaso era nga ku Lwokubiri akawungeezi Engonge yakuttunka n’Engabi Ennyunga e Wankulukuku ku ssaawa kumi zakawungeezi.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...