TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Benitez munyiivu olwa Newcastle okumugoba

Benitez munyiivu olwa Newcastle okumugoba

By Musasi wa Bukedde

Added 25th June 2019

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Benitez22 703x422

Benitez

KOOCI Rafa Benitez, anyiigidde ababadde bakama be aba Newcastle, olw’okumugoba ne batamuwa bubaka mu butotongole.

Benitez yeegatta ku Newcastle mu 2016 ng’eri mu Premier kyokka n’esalwako okudda mu Championship wabula n’agiyamba okudda mu Premier. Endagaano ye, eggwaako nga June 30 era abakungu ba Newcastle baategeezezza nti bw’eneeggwaako, tebagenda kugizza buggya.

Agava mu Newcastle galaga nga Benitez, bwe yataddewo obukakwakkulizo obungi, obwalemye Newcastle okukkaanya naye. Wabula n’ensonda endala zigamba nti Benitez, yayagadde abalemese, atere yeegatte ku Dalian Yifang ey’omu liigi y’e China, eyamusuubizza omusaala omusava.


Benitez, na kati akyakukkuluma ng’agamba nti eby’okuva kwe mu Newcastle yabitegeeredde ku mukwano gwe eyamugambye ku kya Newcastle kye yabadde esazeewo. Agamba nti Newcastle yandimuweerezza ekiwandiiko ekimusiibula mu butongole.


Benitez, atendeeseeko ttiimu okuli; Real Madrid, Liverpool, Chelsea (wa kiseera), Napoli n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...