TOP

AFCON2019; Cranes tukyaliko

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2019

GGOOLO ya Emma Okwi eyongedde Cranes essuubi ly’okuyitamu okwesogga oluzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z’ekikopo kya Afrika eziyindira wano e Misiri.

Cranes1 703x422

Omuzibizi wa Cranes, Godfrey Walusimbi 'Jjajja Waalu' (ku kkono) ne Khama Billiat owa Zimbabwe mu nsiike eggulo. Baalemaganye ggoolo 1-1.

CAIRO, Lwakusatu
Uganda 1-1 Zimbabwe
 
GGOOLO ya Emma Okwi eyongedde Cranes essuubi ly’okuyitamu okwesogga oluzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z’ekikopo kya Afrika eziyindira wano e Misiri.
 
Mu ddakiika 12 zokka, Abdu Lumala yasazizza omupiira okuva ku wingi ya ddyo kyokka ennyanda n’eremerera omukwasi wa ggoolo ya Zimbabwe, George Chigova n’aguwandula mu maaso ga Okwi n’akuba mu katimba.
 
Ggoolo yayaniriziddwa enduulu mu bawagizi abali e Cairo, ate mu Uganda, Kampala n’ebibuga ebirala byabuutikiddwa enduulu okuva mu bawagizi bakira aboota obuliro omupiira ku ttivvi.
 
Kyokka ggoolo yasaanudde Zimbabwe n’erumba Uganda obutasalako. Wano omukwasi wa ggoolo, Denis Onyango yayolesezza obukugu mu kutaasa ennyanda.
 
Okulumba kwa Zimbabwe kwavuddemu ebibala mu ddakiika ya 41, omuzannyi asinga okuba ow’omutawaana Khama Billiat, eyazannyanga ne Denis Onyango mu Mamelodi eya South Afrika n’amukuba ggoolo eyabaddemu obukugu. Omupiira gwamusanze mu ntabwe ya ggoolo n’agunyoola okuyingirira okumpi n’omuti gwa ggoolo.
 
Omuzannyo gwayolese omupiira bwe gwetaagamu ennyo omukisa kubanga Zimbabwe yafiiriddwa emikisa mingi. Kyokka ate mu ddakiika y'e 70, aba Zimbabwe baaweddemu ggaasi olwo Cranes n’etabuka okubalumba ng’enjuki. Nabo lukisakisa lwe lwabataasizza okuteebwa.
 
CRANES YEETAAGA KI?
Kati Cranes okuyitamu erina kufiira ku Misiri ku Ssande efuneyo waakiri akabonero. Oba si ekyo Cranes erina kuyitirawo ku kibalo.
 
Cranes erina obubonero buna nga ssinga Zimbabwe ekuba Congo olwo ejja kuba (Zimbabwe) nga yenkana ne Cranes obubonero olwo atwala ekifo ekyokubiri asinziire ku mupiira gwa Cranes ne Misiri. Kyokka ssinga Zimbabwe ne Congo bagwa amaliri (okusinziira ku byavudde mu gwa Congo ne Misiri) olwo Cranes eyitawo butereevu.
Kyokka ssinga Misiri ekuba Cranes ku ggoolo esukka ku emu, ne Zimbabwe n’ekuba Congo olwo Zimbabwe y’eba n’enkizo.
 
Kino kiba kitegeeza nti Cranes erina kulindirira ebiva mu bibinja ebirala okuyitamu. Mu mpaka z’omwaka guno, ebibinja biri mukaaga.
 
Ttiimu bbiri ziyitamu butereevu okuva mu bibinja omukaaga ne zikola ttiimu 12, olwo ttiimu nnya ezinaasinga okukola obulungi zeegatte ku 12 okuweza 16 ezinaavuganya ku luzannya oluddako. Obubonero obuna Cranes bw’erina kati bugiwa enkizo nnene okuvuganya ku ttiimu ezinaagenda ku luzannya oluddako.
 
OMUTINDO GWABUZEEMU
Mu mupiira gwa Zimbabwe, vidy Karuru yafuukidde Ben Mugabi owa Cranes ekizibu, era we baateebedde Cranes Karuru yasazizza omupiira okuguteeka ku kigere kya Billiat nga Cranes yayidde dda.
 
Okwawukanako ku gwa DR Congo, Cranes gye yakolera buli ky’eyagala mu kisaawe, guno gwakaalubiridde nnyo Uganda. Onyango yataasizza emipiira emizibu ebiri mu kitundu ekyokubiri. Onyango ‘yasenye’ omupiira ku layini ogwasaziddwa Billiat eyasinze okutulugunya Cranes.
 
Nga Onyango tannaba kutaasa guno, kapiteeni wa Zimbabwe, Knowledge Musona, eyabadde tali ku mutindo, yatunudde mu ggoolo enkalu nga Onyango yabuze dda n’akuba omupiira ku muti waggulu mu ddakiika y'e 68. Wano Bannayuganda abaabadde ku ttivvi baafunye essuubi nti osanga omupiira baakuguggyamu ekiramu.
 
KADDU ALEMWA GGOOLO
Patrick Kaddu yafunye omukisa. Lumala yasazizza omupiira ggoolokipa George Chigova n’aguwandula ne gusanga Kaddu ng’ali yekka, mu kifo ky’okussa omupiira mu katimba yayagadde kutta muntu n’aggyayo n’ag’omu buto n’agukuba bweru. Zimbabwe yasizza ekikkowe, nga tekikkiriza nti ggoolo eyo tenywedde!
 
Mu ddakiika y'e 88, Sebastian Desabre yakkirizza nti osanga akabonero kamumala n’aggyamu Miya okuleetamu omuzibizi Timothy Awany. Musona yazzeemu n’asubwa omukisa omwozeeko mu y'e 92 kyokka na guno n’agukuba ebbali. Buli muzannyi wa Zimbabwe yakutte ku mutwe. Desabre yasizza ekikkowe.
 
Onyango yatandise okuwa ebiragiro abazannyi be. Gwawedde Cranes ewaga, kubanga ekigere ekimu kiri ku luzannya lwa ttiimu 16.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata