TOP

ManU esonjodde Bissaka

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2019

Bissaka waakuweebwa endagaano ya myaka 5

Bissakaweb2 703x422

Bissaka ne famire n'omujoozi nnamba 29 gw'suubira okwambala mu ManU

MAN United, emalirizza emisoso gyonna, egikansa omuzannyi Aaron Wan Bissaka okumuggya mu Crystal Palace.


Wiiki eno yonna, omuzannyi ono agimaze mu kibuga Manchester era abasawo baamaze dda okumwekebejja. Kyokka era, yamaze n'okulambula ekisaawe kya Carrington Park ng'eno ManU gy'etendekebwa.


Musaayimuto ono ow'emyaka 21, yeegatta ku Crystal Palace nga wa myaka 11 ng'agenze okugyabulira, ng'emusasula pawundi 10,000 buli wiiki era y'omu ku bazannyi ababadde basembayo okusasula ensimbi entono ate ng'ali ku ttiimu etandika mu Premier.


ManU, emuguze obukadde bwa pawundi 50 wadde nga yasoose kusasulayo 45 era nga waakusasulwa pawundi 80,000 buli wiiki mu ndagaano y'emyaka 5 gye bakkiriziganyizza. Ye muzannyi owookubiri, ManU gw'ekansizza mu katale kano akayinda ng'addirira Daniel James gwe yaguze mu Swansea.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...