TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Arsenal yeegasse mu lwokaano lwa Cahilll

Arsenal yeegasse mu lwokaano lwa Cahilll

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2019

Kigambibwa nti Arsenal yeemu ku ttiimu ezivuddeyo, okwefunira Cahill ku bwereere.

Cahillweb 703x422

cahill

AGAYITA mu nkuubo galaga nti Arsenal yeegasse mu lwokaano lwa ttiimu, ezaagala okuwonya Gary Cahill akatebe.


Cahill, yavudde mu Chelsea gy'abadde amaze emyaka 8 era oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako, ttiimu yonna emwagala, emutwalira bwereere.


Ku myaka 33, ttiimu za Premier ez'enjawulo zikyetegereza oba zimuwa endagaano abeeko ky'azikolera sizoni ejja era abakulembedde olukalala luno, ye West Ham kyokka nga ne Roy Hosgson atendeka Crystal Palace, amulabamu ekitone.


Ye ng'omuzannyi, alabika naye akyayagala okuzannya era Arsenal yeegasse ku ttiimu ezaagala okumuwonya akatebe akamwokya. Wabula abagagga ba Arsenal, baawa omutendesi Unai Emery obukadde 45, mw'aba apulaaningira bw'aba waakukansaayo abazannyi abalala mu katale kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...