TOP

zelles ekiruyi ezze kimalira ku Kenya

By Musasi wa Bukedde

Added 29th June 2019

zelles ekiruyi ezze kimalira ku Kenya

Kat2 703x422

Bya Gerald Kikulwe

Leero(Lwamukaaga) mu zone 5 Basketball

Kenya – Uganda(11:00)

Uganda – Egypt(1:00)

‘GAZELLES’ ttiimu  y’eggwanga eya Basketball abawala ekiruyi kya Misiri okubava wansi neebakuba ku lwokuna b’azze kukimalira ku Kenya mu nsiike eyokusatu mu mpaka z’okusunsulamu aba Zoozi 5.

Abawala baafuna ekyekango ku lwokuna bwe baakulembera obutundu bw’omuzannyo obubiri obw’asooka n’enjawulo ya bugoba 16 (40-24),Misiri yakomawo mu butundu obubiri obwasembayo n’ewangula omuzannyo n’obugoba 64-55.

Kino kyakola bubi ttiimu y’abakyala oluvannyuma lw’okuwangula ensiike eyasooka ng’ekuba Rwanda (62-53) ng’olwa leero (Lwamukaaga)June,29 baagala kuwangula Kenya mu nsiike y’ebibinja esembayo okusobola okutangaaza emikisa gy’okuyitamu.

Empaka ziyindira mu MTN Arena e Lugogo nga ze z’okusunsulamu abanakiikirira Zone 5 mu z’Afrika ‘AfroBasket’ ezigenda okubeera mu kibuga Bamako ekya Mali wakati wa July 19-28.

Zeetabiddwaamu amawanga 5 okuli; Uganda, Kenya, Rwanda, Tanzania ne Misiri nga kuzino betaagako ttiimu emu okwegatta ku Senegal, mali, Nigeria, Cameroon ne Mozambique abaayitamu edda.

Flavia Oketcho kapiteeni wa ttiimu y’abawala agamba nti ensobi ze baakola Misiri okubakuba tebaagala kuziddamu era banywedde okwemalira egogga ku Kenya.

Gazelles y’asembayo okwetaba mu mpaka  zino mu 2015 e Cameroon.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.