TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2019

Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Pi1 703x422

Omulimi wa payini ng’alaga emiti gye. Ku ddyo bwe bucupa omuli butto akamuddwa mu payini,

ABANTU bangi beevuma payini nga bagamba nti akaza ettaka. Naye ate n’abamulimye bangi okumukolamu ssente. Ekibi abamulima basinga kutunuulira mbaawo ne beerabira nti waliwo emigaso emirala nga bakamukenenulamu butto kuva mu musanda ne bakolamu ssente nga bwe balinda ezembaawo.

Butto oyo ssinga omufuna alimu emigaso gino wammanga; l Abalumwa ennyingo n’ebinywa mwesiige akuyambe okugoba obulumi.

l Ajjanjaba ekifuba, akagiiko ka ssukaali akatono kamu oteekeko butto w’amasanda ga payini onywe.

l Agoba ebiwuka mu bantu n’ebisolo, omuntu anywa amatondo 5 ate ebisolo n’ebinyonyi nga enkoko oziwa amatondo 20 mu liita 20 ez’amazzi. Wabula omukyala owoolubuto tomuwa.

l Ayamba okugoba oluwumu, luno lutera okusumbuwa abavubuka olw’obucaafu, okugabana ebintu bye bakozesa ng’engoye n’okuba n’abaserikale abanafu, nywayo obujiiko butaano n’okumwesiiga ajja kulugoba.

l Agoba ensekere n’atta n’amagi gaazo, wabula asiiyibwa enviiri mwesiiga zirekerawo okukusiiwa. Akola saampo osobola okumutabulamu.

l Asaabulula obuyinja mu nsigo n’akawago, wabula wano onywa amatondo 5 ku mazzi agabuguma.

l Ayamba abantu abatawunyiriza bulungi olw’eminyira egyakwata mu kiwanga, bw’omusiiga ku nnyindo ne munda waayo azibukula ekiwanga n’obusimu obutwala ku bwongo n’oddamu okuwunyiriza.

l Ayamba ku mabwa agatawona naddala abalwadde ba ssukaali batera okubeera n’amabwa agatawona, naye bw’omusiigako nga gakala mangu ate ayamba ne ku buzimba obutawona.

l Akola ku bawunya ebigere n’ebigere ebisiiwa ne biwona. kyokka akola ku bimmonde ebitera okuluma obumyu.

l Akola ku yinfekisoni naddala mu bakyala abatera okuzifuna olw’okugenda mu kaabuyonjo encaafu.

l Ayamba okutta obutoffaali obuleeta kookolo, omuteeka mu mubisi gw’enjuki n’onuuna obuwuka bwe bujja okulya nga bufa, olw’okubaamu ekirungo ekiziyiza kookolo obutasaasaana mu mubiri.

l Butto w’amasanda ga payini ayamba okutta obuwuka obulya amannyo ssinga omutonnyeza mu linnya eddwadde. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana