TOP

She Cranes erinnye mu nsengeka

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2019

She Cranes erinnye mu nsengeka

Set2 703x422

NGA World Cup y’okubaka ebulako mbale etandike, Uganda efunye ensonga endala okwongera okufiirawo oluvannyuma lw'okulinnya ebifo mu nsengeka.

She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, eri mu keetalo nga yeetegekera World Cup etandika wiiki ejja nga July 12, mu kibuga Liverpool e Bungereza. Empaka zino we zituukidde nga Uganda erinnye ekifo mu nsengeka z’ekibiina ekiddukanya okubaka mu nsi yonna ekya International Netball Federation (INF), okuva mu kyomusanvu okudda mu kyomukaaga.

Mu kyomukaaga Uganda yaggyeewo Malawi, eyasindiikiriziddwa okutuuka mu kyomwenda emabega wa Scotland (7) ne Northern Ireland (8). Bakyampiyoni b’ensi yonna aba Australia be bakulembedde ne baddirirwa Jamaica, Bungereza ne New Zealand, ate South Afrika, ekwata ekisooka mu Afrika n'ebeera yakutaano mu nsi yonna.

Kati Uganda ekwata kyakubiri mu Afrika, era nga singa ekuuma omutindo n'esigala mu kifo ekyomukaaga, ejja kuba teyeetaaga kwetaba mu za kusunsulamu okuzannya mu World Cup eneddako mu 2023, e South Afrika.

Vincent Kiwanuka, omutendesi wa She Cranes yagambye nti amawulire gano gaakwongera abazannyi be amaanyi n’okwekkiririzaamu, n'okubaggulirawo emikisa okuzannya 'pulo', kuba Uganda egenda kwongera okuyitibwa n’okwetaba mu mpaka ez’omuzinzi eziwerako, kibayambe okulabibwa bakitunzi ba kiraabu ez’amaanyi.

SSENTE ZIKYABEESAMBYE Mu kiseera kye kimu, enkambi ya She Cranes ekyali mu kattu olwa Gavumenti okulwawo okubawa ssente obuwumbi 2.1, ze yeeyama okubayamba okukola ku nteekateeka z’okugenda mu World Cup.

Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Ssaabawandiisi w’akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga aka NCS, Dr. Bernard Ogwel, yalangirira ttiimu y’abazannyi 15 n’abakungu mukaaga abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka zino.

Bano bonna beetaaga tikiti z’ennyonyi, okubasasulira we banaasula, n’ebintu ebirala, wabula ensimbi tezinnalabika.

Jocelyn Uchanda, maneja wa She Cranes, agamba nti ssente zino era baali bategeseeko enzannya z’omukwano n’amawanga nga; Australia, Jamaica ne Malawi, kyokka tebaasobola kukituukiriza. “Ttiimu erina okusitula ku Lwokutaano luno wabula emikisa gy’okukituukiriza gikyali mitono ddala,” Uchanda bwe yategeezezza.

Agattako nti ensimbi bwe zinaabula bajja kusooka kutwalako abazannyi abatandika n’abatendesi abamu, abalala babeegatteko oluvannyuma. MINISITA ATANGAAZIZZA Minisita w'Ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi yaggumizza abookubaka nti ssente zikolebwako, era bajja kuzifuna ng'olunaku ttiimu lw'esimbulirako terunnatuuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo