TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Chelsea etutte Lampard asikire Sarri ku butendesi

Chelsea etutte Lampard asikire Sarri ku butendesi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2019

Lampard yaweereddwa endagaano ya myaka 3

Mmmm 703x422

Lampard ne Sarri gwe yasikidde

KYADDAAKI, Chelsea emaze n'ewa Frank Lampard omulimu gw'obutendesi. Lampard, 41, yasikidde Maurizio Sarri, eyayabulidde ttiimu eno okwegatta ku Juventus.

Chelsea yamuwadde endagaano ya myaka 3 era abakungu ba Chelsea bamulinamu obwesige bw'okusitula ttiimu. Lampard yaliko mu Chelsea ng'omuzannyi okumala emyaka 13 n'awangula ebikopo 11 eby'enjawulo mu mipiira 648. Chelsea emwesize, okugisitula etinte okuva Sarri we yagireka. 

Kyokka akaseera k'ajjiddemu nga Chelsea eri ku kkoligo lya myaka 2 nga tegula bazannyi wadde nga basuubirwa okujulira. Lampard yategeezezza nti; "Ndi muwagizi wa Chelsea lukulwe era nzize nkole na maanyi okusitula Chelsea eddemu ewangule ebikopo eby'omuzinzi."


Lampard afuuse omutendesi ow'e 10, Chelsea gwe yaakabeera naye okuva omugagga Roman Abramovich lwe yagigula mu 2004. Dayirekita wa Chelsea, Marina Granovskaia agamba nti Lampard gy'abadde mu Derby, ayolesezza obukodyo obubasikirizza okumukansa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako