TOP

Omutendesi wa Gomba asuddewo tawulo

By Dickson Kulumba

Added 8th July 2019

Omutendesi wa Gomba asuddewo tawulo

Leb2 703x422

Omer Selli abadde omutendesi wa ttiimu ya Gomba asuddewo Tawulo

OMUTENDESI wa ttiimu y’essaza ly’e Gomba,Omer Selli asuddewo tawulo ng’entabwe eva ku bakulira ttiimu eno okuyingiriranga emirimu gye ssaako n’obutamusasula nsimbi bukya ateeka omukono ku ndagaano mu March 2019.

Mu bbaluwa, Selli gyeyaweerezza ssentebe wa ttiimu eno, Mansoor Kabugo eya nga July 3,2019, Selli yategeezezza nti bino byebimuletedde okwesamba ttiimu mu mipiira ebiri egisembyeyo okuli ogwazanyibwa ne Bugerere ssaako n’ogwa Ssingo ogwazanyiddwa ku Ssande July 7,2019 e Kabulasoke.

“Okuyingiriranga emirimu gyange ne nemwa okulonda ttiimu nze gyenjagala ate n’ebirowoozo byange ku ttiimu erondeddwa nabyo ne bitasibwamu kitiibwa.

Ekirala okunsasula ensimbi zetwakkanyako ng’ateeka omukono ku ndagaano, obukadde 3,5000,000/- saako n’ensimbi 500,000/-eza buli mwezi okuva March 12,2019,” Selli bwatyo bweyanyonyodde ebimu ku bimuviriddeko okulowooza ku ky’okuva ku mulimu gw’obutendesi.

Bannagomba babadde n’essuubi ddene mu Selli era bweyayanjulwa, baagamba nti bagenda kuddamu okuddamu okutwala ku kikopo wabula ebintu bibadde tebimutambulidde bulungi naagamba nti ebizibu bino, abawagizi babadde tebabimanyi.

Selli yagambye nti okuva July 3,2019 lweyawereeza Kabugo ebbaluwa, tafunanga kuddibwamu bwatyo ku Ssande July 7,2019 kwe kusalawo okulangirira nga bwavudde ku ttiimu eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...