TOP

Tooro yeekengedde akalulu k'empaka za FUFA Drum

By Gerald Kikulwe

Added 9th July 2019

NGA akalulu ka “Quarter” fayinolo za FUFA Drum kagenda okukwatibwa, omutendesi wa Pulovinsi ya Tooro Fred Muhumuza yeekengedde okusisinkana Buganda ne West Nile nti zaandimukutulira mu maanyi.

From1 703x422

abazannyi ba Tooro nga basanyukira ezimu ku ggoolo 2-0 ze baateebye e Lugogo

Enkya (Lwakusatu) July 9, 2019, akalulu wakati wa ttiimu 8 ez’atuuse ku mutendera gwa ‘Quarter’ mu kikopo kya FUFA Drum bwe kakwatibwa ku Offiisi za FUFA e Mengo wabula atendeka Tooro abataava mu kibinja sizoni ewedde bali kussaala baleme kubasuula ku bakyampiyoni ba Sizoni ewedde aba Buganda n’akwata ekyokubiri West Nile.

Muhumuza agamba nti ekiruubirirwa kyabwe kya kutuuka ku fayinolo wabula ku mutendera gwa ‘quarter ne ‘Semi’ tebandiyagadde kusisnka Buganda oba West Nile kuba bandyekiika mu kkubo lyabwe.

“Ssinga tutuuka ku ‘Semi’ za sizoni eno, n’ekokopo tusobola okukitwala kasita tutasisikana ba kyampiyoni naye nga twetegese bulungi okuvuganya,” Muhumuza bwe yategeezezza.

Tooro y’awangudde ensiike zombi n’omugatte gwa ggoolo 4-0 awaka ne kubugenyi ng’ewandulamu Kampala era n’ekulembera ekibinja A n’obubonero 10.

Ttiimu ezirindiridde akalulu kuliko; Tooro, Busoga, Buganda, Lango, Acholi, Bugishu, Bukedi ne West Nile.

Buganda be balina ekikopo kya sizoni ewedde, ezisigadde zinoonya kisooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...