TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Olowooza Uganda Cranes esobola okukiika mu World Cup e Qatar mu 2022?

Olowooza Uganda Cranes esobola okukiika mu World Cup e Qatar mu 2022?

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2019

WADDE empaka za AFCON zikyagenda mu maaso e Misiri, nneebaza Bannayuganda okuwagira Cranes.

Dylc8ywsaapvfp 703x422

Ttiimu eno yayolesa omutindo omulungi naddala nga tuzannya DR Congo ne Misiri.

Senegal tetwagulinaamu ssuubi oluvannyuma lw’abazannyi okwediima okutendekebwa.

November 24/ 2014, FUFA yasuubiza abantu nti yaakutwala Cranes mu AFCON ya 2019 .

Polojekiti eno yakomekkerezeddwa era eno nkola mpya y’egenda okutandika.

Wadde mu 2017, Cranes yakiika mu mpaka ezaali e Gabon n’eteva mu kibinja, ekigendererwa kyaffe kyali kya kuzannya za 2019 era ndowooza mwategedde nti Moses Magogo akulembera FUFA kye yali ategeeza.

Mu ngeri y’emu, Magogo yazzeemu okusuubiza nga kati Cranes bw’etaandise kaweefube w’okukiika mu World Cup wa 2026 e Canada, Mexico ne Amerika.

Magogo agamba nti okutwala ttiimu mu AFCON oba World Cup si kwogera bw’ogezi wabula kukola nga bwe gubadde mu AFCON.

Tujja kuzannya mu buli mpaka okuli CAF, FIFA kwosa CECAFA ne liigi z’eggwanga zonna era ttiimu zonna zaakuzeetabamu.

CHAN ya 2021, 2022/, 2024 ne 2026 ssaako AFCON wa 2021/, 2023 ne 2025 n’ez’okusunsulamu abalizannya World Cup.

Kino tugenda kukikola okusobozese abazannyi okuguma n’okufuna obumanyirivu era we tunaatuukira mu 2026, abazannyi bonna bajja kuba mu mbeera nnungi nga basobola okulwanirira eggwanga.

FUFA yayimirizza ababadde abatendesi Cranes, abasawo na buli omu abadde ku ttiimu eno ssaako aba ttiimu ento zonna.

Kati buli ayagala omulimu gino alina okusaba kasita abeera n’ebisaanyizo ebimala. Abdallah Mubiru, Livingstone Mbabazi, Sadiq Wassa ne Geoffrey Massa be baateereddwaawo ng’ab’ekiseera okutwala Cranes mu CHAN era abantu babalinamu essuubi ddene. Cranes, eddamu leero okutendekebwa mu kisaawe e Lugogo nga yeetegekera okuzannya ez’okusunsulamu abanaazannya empaka za CHAN nga July 26. Battunka ne Somalia omwezi guno nga 26 e Somalia. georgesimlala@gmail.com 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup