TOP

Uganda eviiriddemo awo mu rugby

By Silvano Kibuuka

Added 14th July 2019

Ttiimu z'eggwanga eza rugby, ey'abasajja n'abakazi, zaalemeddwa okuwangula ekikopo kya Elgon Cup, Kenya bwe yazikubye zombi

Rugby 703x422

David Katende (ku kkono), omukungu wa NCS, ng'akwasa abazannyi ba ttiimu ya Kenya eya Rugby ekikopo

Elgon 2019 Cup Abasajja:

Uganda 05 – 16 Kenya

(Ogwasooka)

Kenya 13-16 Uganda

Abakazi:

Uganda 05 – 35 Kenya

(Ogwasooka)

Kenya 42-13 Uganda

TTIIMU ya Rugby ey’e Kenya ‘ Kenya Crocodiles’  eremesezza  Uganda essanyu n’omukisa okuwangula ekikopo kya  Elgon Cup eky’omukaaga, bwe yagikubye ku bubonero 16-05. Omuzannyo gwabadde ku kisaawe kya Kyaddondo e Lugogo, ku Lwomukaaga.

Omutendesi wa Rugby Cranes, Robert Seguya, abazannyi, n’abawagizi baatandise bamativu nti we baakoma mu luzannya olwasooka we bagenda okutandikira (baawangula 16-13), era be baasoose okulya empanga ne bafuna obunonero 5.Wabula buno bulinga obwabaseze, kuba  kwe baakomye.

Omuzibizi wa Rugby Cranes, Phillip Wokorach,  y’omu ku baasinze okuyiwayo Uganda bwe yalemeddwa peneti bbiri mwe bandifunidde obubonero 6.

“Abateebi baabadde ng’abakubemu emisumaali, ate nga basuula nnyo emipiira. Emipiira eg’okusimula nagyo gyabalemye olw’ekisaawe ekyabaddemu obuseerezi. Wabula tebinaggwa tujja kwesasuliza mu mpaka eziddako eza Victoria Cup”,  Seguya bwe yategeezezza.

 muzannyi wa enya rene tieno ngayita ku ba ganda mu lgon up enya yawangudde 355 Omuzannyi wa Kenya Irene Otieno ng'ayita ku ba Uganda mu Elgon Cup. Kenya yawangudde 35-5

 

Bannakenya baasoosse kusitukira mu ky’abakazi ku kisaawe kye kimu, oluvannyuma  Rugby Lady Cranes,  n’esuubiza okukola obulungi e South Africa mu z’okusunsula abaanazannya World Cup ya 2021, mu New Zealand.

Zino zirimu Kenya, Madagascar ne Uganda, nga zaakuberawo wakati wa  August 9-17, mu kibuga  Johannesburg, omuwangizi agende butereevu mu World Cup.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...