TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abemmemba beekengedde Abekinyomo mu Bika

Abemmemba beekengedde Abekinyomo mu Bika

By Moses Kigongo

Added 14th July 2019

Omutendesi wa Mmambe Kakoboza alabudde abazannyi be ku Kinyomo kye bazannya mu gy'Ebika

Kakobozaweb 703x422

Disan Galiwango (ku ddyo), owa Kakoboza ng'asala'omuzibizi w'Engabi Ensamba, Charles Lubega gye buvuddeko

Mmande mu gy’Ebika;

Kakoboza – Kinyomo

Ogwazannyiddwa

Kkobe 1-0 Nsenene

OMUTENDESI w’Emmamba Kakoboza, Mohammad Kiberu, alabudde abazannyi be obutanyooma ttiimu ya Kinyomo kuba erina obusobozi obubawandula mu mpaka z’Ebika.

Bino yabyogedde yaakamala okukola amaliri 3-3, ne ttiimu ya Galaxy FC e Lungujja, mu gumu ku mupiira gwe yabadde ageresezaamu abamu ku bazannyi be n’okufuna ekifaananyi kya ttiimu gy’asuubira okutandisa ku Mmande bwe banaaba battunka n’Ekinyomo e Wankulukuku, mu luzannya olusooka olwa ttiimu 16.

“Buli muzannyi ateekeddwa okuyingira ekisaawe n’ekigendererwa ky'okufiirawo okulaba nga tufuna obuwanguzi kubanga tewali ttiimu  etuuse wano a nnafu”, Kiberu bwe yategeezezza ng’omupiira gwa kaggwa.

Abeekinyomo, nga bakulembeddwaamu George William Ssenyomo, maneja, basuubizza okutuusa ku Kakoboza, ekintu kye kimu kye baakola Endiga.

 ayongo ku ddyo nomuwagizi wkkobe omulala mu ssanyu Kayongo (ku ddyo) n'omuwagizi w'Ekkobe omulala, mu ssanyu

 

Mungeri y’emu, Ekkobe ly'akubye Enseenene ggoolo 1-0, ne liwa abawagizi baayo abakulembeddwa Paul Kayongo (eyaliko maneja), essanyu lya mirundi ebbiri; okuwangulira mu mujoozi omupya ogwabadeko ekifaananyi kya Namwama, n’eryokuwangulira ku butaka bwalyo e Buwama.

Badding’ana nga July 23, e Kasana mu Luweero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye