TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Buddo SS etolotoomedde mu mizannyo gy'amasomero

Buddo SS etolotoomedde mu mizannyo gy'amasomero

By Gerald Kikulwe

Added 15th July 2019

Buddo SS ewanguddwa ku semi y'okubaka ne yeekwasa baddiifi okuba ne kyekuubira

Kikuweweb 703x422

Malisera Akello (ku kkono) ne Ruth Sandra Nambirige aba Kitende, nga battunka ne Mariam Nanfuka ne Immaculate Namuli aba St. Noah

ABA Buddo SS si bamativu n’engeri akakiiko akategesi gye kakuttemu empaka z’omwaka guno ez’emizannyo egy’enjawulo mu masomero ga siniya ‘Ball Games’.

Empaka zino, ezimaze wiiki nnamba nga zizannyibwa ku Teso College Aloet Arapaizeetabiddwaamu amasomero 316 okuva mu disitulikiti za Uganda ez’enjawulo ezattunze mu mizannyo okuli; volleyball, omupiira, rugby, handball, okudduka, okubaka, n’emirala, era zaakomekekrezeddwa ku Lwomukaaga.

Mu kubaka, Buddo SS yawandukidde ku semi, bwe yakubiddwa St.Noah ku bugoba 26-24. Omuzannyo guno gwabaddemu okuwanyisiganya ebigambo, era ng’oluzannya olusooka lwakatambulako eddakiika munaana, omutendesi wa Buddo SS Rashid Mubiru, yavudde mu mbeera n’adduumira ttiimu ye obutagenda mu maaso na kuzannya.

Wano St. Noah yabadde ekulembedde 13-9,  omuzannyo ne guyimirira okumala eddakiika 11, ng'aba Buddo balumirizza badiifiri abaabadde mu mitambo gy’omuzannyo guno okubasaliriza ne bawa St.Noah obubonero obw’ekimpatiira.

Mubiru agamba nti okuva ku mutendera gw’ebibinja, abategesi bazze babasisinkanya  ttiimu ez’amaanyi zokka ate nga zonna ziva mu disitulikiti y’e Wakiso, ky’agamba nti kibadde nga ekipange okubalemesa.

 ubiru ngalaga obutali bumativu Mubiru ng'alaga obutali bumativu

 

 

“Ekibinja kyaffe baakiteekamu ttiimu musanvu, kyokka ebirala bibaddemu ttaano. Bwe tutuuse ku ‘play offs’, obwedda batusisinkanya banene okuli; Amuti, Exodus, Kawanda,  n’ekitutabudde be baddifiri okutandika okufuuwa kyekubiira mu gwa St.Noah. Twemulugunyiza mu kakiiko ne tusaba babakyuse ne bagaana,” Mubiru bwe yeemulugunyizza.

Wabula Christopher Mugisha, ssaabawandiisi wa USSSA agamba nti bino byonna byekwaso, “Ssinga Buddo yakizudde okuva mu bibinja, lwaki yagenze mu maaso n’okuzannya ensiike zonna? Buli ttiimu erabika nga y’amaanyi n’ekubwa, efuna ebyekwaso, bwe baba sibamativu, bawandiikire minisitule,” Mugisha bwe yagambye.

Ttiimu zonna ezaatuuse ku seimi zaakukiikirira Uganda mu z’obuvanjuba,

 Muburi ng'alaga obutali bumativu

 

wakati wa August 14-29 e Arusha Tanzania.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...