
Henry Kiwanuka (ku ddyo) kapiteeni w'Embogo, ng'alwanira omupiira ne Edward Nkalubo Owomusu mu luzannya olwasooka. Embogo yawangula ggoolo 6-1.
Leero mu gy'Ebika
Omusu- Embogo, e Buwama
Ogwazannyiddwa Mmamba 1-0 Njovu
Bano bazze bamalirivu nga bwe beegumya nti omupiira guzannyibwa eddakiika 90, ne basuubiza abawagizi nga bwe bagenda okulumba okuva ku ntandikwa okutuusa ku ssaawa esembayo, bawangule ne ggoolo 5-0.
Wabula Abembogo bagamba nti bamalirivu okuwangula Engabo y'omwaka, guno era bagenda kwongereza we baakoma nga basonseka Omusu ggoolo.
Mu mirala, ggoolo y'Emmamba Namakaka, eyateebeddwa John Kisaakye nga battunka n’Enjovu mu kisaawe e Kasawo ku Lwokubiri yagiyambye okutangaza emikisa gy'okuzannya 'quarter'.
Omupiira guno gwayimirizibwa oluvannyuma lw'eddakiika 20, olw'enkuba eyafudembye n'egulemesa okweyongerayo.
Gwaddiddwaamu eggulo e Wankulukuku, okuzannyibwa eddakiika ezaabadde zisigaddeyo, ne ziggwaako nga tewali ttiimu eteebye.
Badding'ana nga July 26. Oluvannyuma wazzeewo omupiira wakati w'Ente n'Ekibe.