TOP

KCCA FC lubabu!

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu ttaano.

6688203923901413243725744760079814268813312n 703x422

Rayon Sport 1- 2 KCCA

TP Mazembe 1- 2 Azam

Mu mpaka zino, eziyindira e Rwanda, KCCA yawangudde bannyinimu aba Rayon Sport, ggoolo 2-1, ezaateebeddwa Jackson Nunda ne Mustapha Kizza.

KCCA yasemba okuwangula CECAFA mu 1978, wabula Mutebi agamba nti ttiimu ye ezannya bulungi era alina essuubi nti baakudda mu Uganda n’ekikopo.

“ Tewali ttiimu gy’ogamba nti nnyangu okusisinkana mu kaseera kano, naye tetugenda kuzitya kuba twetaaga buwanguzi,” Mutebi bwe yategeezezza.

Mu byongera okumuwa amaanyi, kwe kuba nti abazannyi abamu tebalina bumanyirivu, kuba zino z’empaka ze baatandikiddeko kyokka ne bakola bulungi.

Nga bawangula Rayon Sport, mu kisenge Mutebi yatandisizza Samuel Kato, Musa Ramandhan ne Peter Magambo, abaakatandika okuzannyira ttiimu eno, sso nga Herbert Achai, eyabadde wakati, naye talina bumanyirivu.

Yatuuzizza Philbert Obenchan, Nicholas Kasozi, ne Saddam Juma abaayitiddwa ku Cranes eyeetegekera empaka eza CHAN, ne Lawrence Bukenya, ababadde batera okutandika.

Semi ezannyibwa nkya ku Lwokutaano wakati wa KCCA ne APR oba Maniema Union, abaazannye eggulo.

Azam, eyawangudde TP Mazembe 2-1, yaakuzannya omuwanguzi wakati wa Gor Mahia ne Green Eagles.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600