TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero ka 'logo' nga tebasasudde yakabakolera

Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero ka 'logo' nga tebasasudde yakabakolera

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde eyagala kkooti eteekewo ekiragiro ekibagaana okuddamu okukakozesa.

Club 703x422

Issa Kainamura ng’ayita mu bannamateeka be aba KTA advocates yawawaabidde kiraabu ya Vipers mu kkooti enkulu etawulula enkayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala ng’omusango guno guli ku fayiro nnamba CS 601/2019.

Mu mpaaba ya Kainamura agamba nti baamutuukirira mu 2015 nga bayita mu kitunzi waabwe Elvis Ssekate eyaliko mu kiseera ekyo ne bamusaba okubakolera omulimu ogwo. 

Yabakolera obubonero busatu okusobola okulondako kamu wabula nga September 26 2018 kyamwewuunyisa bwe yalaba nga batuuzizza olukungaana lw’abannamawulire nga kiraabu ya Vipers eggulawo ekisaawe kyabwe kyokka nga akabonero akamu kwobwo ke yawaayo ke bakozesezza.

Era okuva olwo ne batandika okukakozesa ku bintu eby’enjawulo ng’akabonero kaabwe akamanyiddwa nga tabawadde lukusa wadde okumusasula kino kimuleetedde okufiirwa nga singa kkooti tebateerawo kiragiro kibakungira kukakozesa Kainamura ajja kweyongera okufiira.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600