TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Emizannyo giyamba okuleeta obumu mu bantu

Emizannyo giyamba okuleeta obumu mu bantu

By Nicholas Kalyango

Added 22nd July 2019

Omulangira Davis Wasajja, agambye nti ekimu ku bintu Buganda by'eyinza okuyitamu okugatta abantu gy'emizannyo

Rugbyweb 703x422

Raymond Emanzi owa Pirates ng'alwana okwetakkuluza ku muzannyi wa Jinja Hippos

Coronations Rugby 7s

Fayinolo:

Pirates 38 - 5 Kobs

Semi

Pirates 12- 7 Hippos

Kobs 25 - 10 Impis

OBWAKABAKA bwakuteekawo enkola eraba nga buli muzannyo guzannyibwa mu Buganda, kyongere okuzza obumu mu bantu.

Omulangira David Wasajja yabyogeredde mu kuggalawo empaka za ‘Coronations Rugby 7s’  ezaategekeddwa ekibiina ekitwala rugby mu ggwanga, nga ebimu ku bikujjuko by’okukuza amatikkira ga Kabaka  ag’omulundi ogwa 26. Zaabadde ku kiraabu  ya Legends  e Lugogo, nga zaawanguddwa Pirates eyakomeredde Kobs ku bugoba 38-5.

 mulangira asajja ku kkono ne ohn ichael addu wakati nga bawuliriza pulezidenti wa  illiam lick Omulangira Wasajja (ku kkono) ne John Michael Kaddu (wakati), nga bawuliriza pulezidenti wa UOC, William Blick

 

“Ekimu ku bye tulina okuyitamu okugatta abantu ba Kabaka, kirina kubeera mizannyo.  Amasomeroa matono agazannya rugby mu Buganda, wabula tugenda kulwana okulaba nga gonna gatwala emizannyo egy’enjawulo,” Wasajja bwe yagambye. 

Denis Etau ye yasinze banne okuteeba, n’aweebwa emitwalo 30, ate Jonathan Lahon n’alondebwa ng’eyasinze banne okwolesa ttalanta. Ku kikopo, Pirates yawanguliddeko ne 3,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...