TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Musaayimuto acamudde abawagizi ba volleyball

Musaayimuto acamudde abawagizi ba volleyball

By Silvano Kibuuka

Added 22nd July 2019

Musaayimuto alaze abazannyi ba volleyball nti emizannyo tegizannyibwa myaka, bw'abasinzizza ensumika mu mpaka z'amasomero

Volleyballwebweb 703x422

Shadia Nakitende ng'akuba omupiira

Musaayimuto, Shadia Nakitende 11, omuyizi mu Sunrise P/S e Matugga, y’omu ku baasinze okukwata abawagizi omubabiro olwa ttalanta gye yayolesezza mu kuzannya volleyball.

Nakitende, eyabadde asinga obutono ku ttiimu y’abali wansi w’emyaka 12, ekitone yasinze kukyoleseza ku ku saavinga (okukuba omupiira nga batandika oluzannya) obwedda gyakuba nga gigwira ddala mu ntabwe y’omulabe ate ng’abasinga gyabadde gibalema okuzza.

“Omwana ono ajja kubeera mulungi nnyo mu muzannyo guno era asaana kussibwako maaso”, omu ku ku baategese empaka zino, Edgar Karungi bwe yategeezezza.

Nakitende, asoma m P.5, yategeezezza nti omuzannyo yagutandikira mu P.3  era ekirooto kye kya kuzannyirako ttiimu y’eggwanga.

  muzannyi wa amaritan  ku ddyo ngakuba aba hema  omupiira ku luzannya lwa semi amaritan yawangudde 20 okwesogga fayinolo Omuzannyi wa Samaritan P?S (ku ddyo) ng'akuba aba Rhema P?S omupiira ku luzannya lwa semi. Samaritan yawangudde 2-0 okwesogga fayinolo

 

Zaabadde mpaka za volleyball w’amasomero ga pulayimale eza ‘NSSF-KAVC Schools International Tournament’ ezeetabiddwamu ttiimu 25 ku Samaritan P/S e Namugongo, ku Ssande.

Enzannya za fayinolo za August 4 e Lugogo era zaakwegattibwamu kiraabu za Uganda n’ezebweru.

Abaayiseemu okuzannya fayinolo ye St. James Nkumba ne Samaritan mu b’emyaka 14, wamu ne Sunrise A ne St. James Nkumba mu balenzi ab’emyaka 12.

Mu bawala Sunrise egenda kweriga ne Samaritan mu b’emyaka 14, ne 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...