TOP

Abaddigi banoonya obukadde 192

By Nicholas Kalyango

Added 22nd July 2019

Aba ddigi beetaaga obukadde 192 okugenda e Zimbabwe okulwanirira empaka zino ze baasemba okuwangula mu 2012.

Buyambi4 703x422

Abamu ku bavuzi ba ddigi abaatendekeddwa ku ssande e Busiika.

ABATWALA omuzannyo gwa ddigi mu Uganda, bali mu kattu ka kufuna obukadde 192 obunaatwala ttiimu mu mpaka za Afrika eza FIM Africa Motocross Championship ez’okubeerawo nga August 30 – September 1 e Harare, Zimbabwe.

Okusinziira ku ssaabawandisi wa FMU, Joseph Mwangala ne Barrack Orland omumyuka wa pulezidenti wa FMU ku nsonga za ddigi, buli muvuzi yeetaaga doola 230 okwewandiisa n’okufuna layisinsi ebakkiriza okwetaba mu mpaka zino.

“Twetaaga okutwala ttiimu ey’abavuzi abawera. Buli muvuzi gwe tulina mulungi ate ng’asobola okuvuganya obulungi n’abava mu mawanga amalala wabula tukyatubidde n’ekizibu kya ssente ezitusobozesa okutwala ttiimu ezigumivu,” Orland bwe yagambye.

 oseph wangala ku kkono ne arrack rlad amyuka pulezidenti wa  ku nsonga za ddigi Joseph Mwangala (ku kkono) ne Barrack Orlad amyuka pulezidenti wa FMU ku nsonga za ddigi.

 

Yagasseeko nti, “Okutwala abavuzi abangi tekikoma mu kuyamba Uganda kutangaaza mikisa giwangula ngule eno gye yasemba okuwangula mu 2012 e Busiika, wabula kijja kuyamba n’abavuzi okumanyiira okuvuganya okuli mu mpaka zino naddala nga twetegekera okuzitegeka mu 2020.”

Omwaka oguwedde, Uganda yakwata kyakuna n’obubonero 325 mu mpaka zino wabula nga yaakaziwangula omulundi gumu gwokka mu 2012 lwe zaali e Busika.

Abavuzi 34 okuva mu mitendera egy’enjawulo, be basuubirwa okubeera ku ttiimu. Ku Ssande, 16 be baatendekeddwa e Busiika wabula abalala 5 okutendekebwa baakukoledde wabweru wa Uganda.

 reidah subuga ngali ku ddigi mu kutendekebwa e usiika Kreidah Nsubuga ng'ali ku ddigi mu kutendekebwa e Busiika.

 

Kylan Wakesa (MX85cc), Miguel Katende (MX50cc) ne Jonathan Katende (MX50cc Jr) baabadde Kenya era nga beetabye mu mpaka z’e Kenya buli omu n’awangula omutendera gwe ate nga Stav Orland ne Aron Orland enkambi baagikuba mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mid2 220x290

Eby'okukwata owa Middle East ku...

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu

Lop2 220x290

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo...

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo