TOP

Champion bagenze bakolima

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2019

Champion bagenze bakolima

Hit2 703x422

Bya Joseph Zziwa

Saawo Amaaso FC 0-1 Kibira FC

St Pius FC 0-2 Kategula FC

BANNANTAMEGGWA b’empaka za Ssemuko Cup bawanduddwa mu mpaka zino nebagenda nga bakolima oluvannyuma  lw'okuzzaayo ekikopo ky’ebabadde baagaanira okuva lwebakiwangula sizoni ewedde.

Saawo Amaaso FC eyali yeyita Amazon Fc yeyawangula empaka zino sizoni ewedde kyokka omutegesi Samuel Kiragga agamba bano okuva sizoni eno lweyatandika babaddenga babasaba okukomyawo ekikopo kino nga beremye era babadde batuuse n’okubagoba mu mpaka olw'ekyo.

Ku Sunday bano lwebazzizzaayo kikopo era lwebaazannye n'omupiira ogwabawandudde mu mpaka bwebaakubiddwa Kibira FC 1-0 era abamu ku baabadde ku kisaawe baatandise okubisala nga ekikopo bwekibaseza songa n’abamu ku bazannyi bawuliddwako nga bejjusa ekyabakomesezzaawo ekikopo.

Eno Sizoni ya kusatu nga empaka zino zizannyibwa nga zitegekebwa Kansala wa Masajja Kennedy Ssemuko nga omuwanguzi atwala ekikopo,omudaali n'omujoozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600