TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Juventus etaddewo obukwakkulizo ku Dybala

Juventus etaddewo obukwakkulizo ku Dybala

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala.

Dybala 703x422

Dybala

JUVENTUS ekkiriza okutunda Paulo Dybala mu ManU wabula n’eteekawo obukwakkulizo.
Wadde nga ManU yaguze abazannyi okuli; Daniel James ne Aaron Wan-Bissaka omutendesi Ole Gunnar Solskjaer agamba nti yeetaagayo abazannyi abalala okuggumiza ttiimu.


Aludde nga yeegomba Dybala era agamba nti waakukola kyonna ekisoboka okumugula naddala mu kiseera kino nga Romelu Lukaku ayagala kuva mu ttiimu eno.
Wabula Juventus egamba nti bw’eba yaakukkiriza Dybala okugenda, ttiimu emugula erina okumugula ensimbi eziwera.

Dybala, amaze mu Juventus emyaka 4 okuva lwe yagyegattako mu 2015 ng’ava mu Palermo. Ekiseera kino abalirirwamu obukadde bwa pawundi 70 ne 90 era Juventus bw’egamba nti be balina okusasula bwe baba baakumugula. Wabula ManU si ye yokka eyagala omuzannyi ono kuba ne Arsenal, PSG wamu ne Inter Milan zimutaddeko eriiso.


Mu ngeri y’emu, Solskjaer akyali mu nteeseganya ne Leicester, okumuguza omuzibizi Maguire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...