TOP

Ttiimu y'ebikonde eyongeddwaamu obukodyo

By Musasi wa Bukedde

Added 24th July 2019

Ttiimu y'eggwanga eyeebikonde eyongeddwa obukodyo obunaagisobozesa okuwangula emidaali mu mizannyo gya Afrika

Bomberswebnew 703x422

Batantu (ku ddyo) ng'awa Suzan Akello obukodyo

Bya Fred Kisekka

TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde eyongedde okwekkiririzaamu bwe bagyogedde obukodyo n’enkuba empya, nga yeetegekera  emizannyo gya Afrika

The Bombers amakanda yagakuba mu kkomera e Luzira, era eyali ssita wa Uganda mu kuggunda eng’uumi, Solo Musa Batantu, y’omu ku baatwaliddwaayo okwongera okuwa abazannyi obukodyo.

Batantu, mu kiseera kino atendeka kiraabu ya Round 10 mu Dubai, yeegattiddwaako Meddie Hassan Mulandi, eyali mu mitambo gya The Bombers mu mpaka za ‘Africa Boxing Championship’ e Congo Brazaville mu 2017 n’ewangula emidaali esatu; ogwa zaabu n’egya feeza ebiri.

 “Ebikonde ffenna bye byatulera era nasazeewo nkomewo eka mbeeko ettofaali ly’enteeka ku ttiimu y’eggwanga. Mmaze emyaka ebiri nga ntendekera e Dubai, era ndi mugumu nti obukodyo, okuzannyisa sipiidi n’okukasuka eng’uumi enzito bye nnyongedde mu bazannyi, bigenda kubayamba” Batantu bwe yagambye.

Shadir Musa, kapiteeni wa The Bombers yagambye nti obukodyo bwe baafunye bugenda kubayamba okukukumba emidaali mu mizannyo gya Afrika, egigenda okubeera e Morocco  mu kibuga Rabat, wakati wa August 19 ne 31.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu