TOP

Klopp agaanyi okuzza Coutinho

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2019

Klopp atendeka Liverpool agamba nti newankubadde Coutinho muzannyi mulungi, talina kirowoozo kigula winga obudde buno.

Kloppxx 703x422

Klopp

JURGEN Klopp asambazze ebigambibwa nti Liverpool egenda kuddamu okugula Philippe Coutinho.

Coutinho, yeegatta ku Barcelona mu January w’omwaka oguwedde nga kati kigambibwa nti yandiva mu ttiimu eno wadde ng’awanguliddeyo ebikopo bya La Liga bibiri wabula ffoomu ye, ekyagaanyi okumukka.

 outinho Coutinho

 

Ku Lwokusatu, Jamie Carragher eyazannyirako Liverpool yategeezezza nti yandyagadde Coutinho akomewo mu Liverpool wabula Klopp agamba nti newankubadde akikkiriza nti Coutinho muzannyi mulungi era asobola okugya mu ttiimu ye yonna gye baba bamutaddemu n’akola bulungi wabula mu Liverpool, takyasobola kumuzza kuba okumugula, yeetaaga nsimbi nnyingi z’atalinaawo kati.

“Abaagala Coutinho akomewo mu Liverpool bali ku byabwe kuba essaawa eno, sinnalowooza ku kyakugulayo winga yenna,” Klopp bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana