TOP

Everton yeesimbye mu Zaha

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2019

Everton egamba nti nneetegefu okugula Zaha obukadde bwa pawundi 55.

Zaha 703x422

Zaha

Crystal Palace olwagobye Arsenal obutaddamu kulamuuliriza muteebi waayo, Wilfried Zaha, Everton ne yeesowolayo okumugula ensimbi ze baagala.

Arsenal erudde ng’eyagala okugula omuzannyi ono wabula ensimbi obukadde bwa pawundi 40 ze baasooka okutwala ne bazibagobya nga kati baabadde bongeddeko, naye era Crystal Palace n'etegeeza nti ntono.

Abakungu ba Crystal Palace baakangudde ku ddoboozi ne bategeeza nti bakooye Arsenal okudondola omuzannyi waabwe, nga bw’eba terina nsimbi zisukka mu bukadde bwa pawundi 80, teddamu kubatawaanya.

Wano Everton we yeesowoleddeyo, n’ekuba obukadde bwa pawundi 55 ku mmeeza egule omusambi ono.

Bagamba nti basazeewo bagule Zaha ku nsimbi ezimenya likodi y’omuzannyi akyasinze okugulwa ensimbi ennyingi mu kiraabu eno. Kyokka tekinnamanyika oba Crystal Palace eneezikirizza naddala nga baagala ttiimu eweza obukadde bwa pawundi 80.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga