TOP

Bale agenze

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2019

Kiraabu y'e China erangirira essaawa yonna nga bw'eguze Bale

Bale2 703x422

Garteh Bale

WIIKI eno egenze okuggwaako nga Gareth Bale y’ali ku bawagizi b’omupiira abatali bamu okwetooloola ensi yonna. Bale, 30, abadde takyakwatagana n’omutendesi Zinedine Zidane ng’era biyiting’ana nti essaawa yonna ava mu Real Madrid.


Bale yeegatta ku Real mu 2013 ku nsimbi ezaamenya likodi y’omuzannyi akyasinze okugulwa obuwanana ebiseera ebyo (obukadde bwa pawundi 85.3) kyokka abadde takyali muganzi eri abawagizi ba Real abamu n’omutendesi Zidane.

Ensonda ezimu zibadde zitegeeza nti yandidda mu Spurs gye yava kyokka ng’endala zigamba nti ManU ne Arsenal zandimutwala. Wabula kati ekiriwo, kye ky’okuba nga waliwo kiraabu y’e China, emalirizza emisoso gyonna egimugula era essaawa yonna erangirira nga bw’emututte.


Eno ye Jiangsu Suning ey’omu kibuga Nanjing ekirimu abantu obukadde obusoba mu mukaaga. Jiangsu Suning, ezannyira mu liigi y'e China ey'oku ntikko, esuubizza okuwa Bale akakadde ka pawundi kalamba buli wiiki ng’omusaala era essaawa yonna okuva kati, kigambibwa nti yaakulangirira nga bw’emuguze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana