TOP

Abemisinde balinze gya Afrika

By Silvano Kibuuka

Added 29th July 2019

Abaddusi ab'enjawulo bacacanca oluvannyuma lw'okutuusa obudde obunaabasobozesa okwetaba mu mizannyo gya Afrika

Misindeweb 703x422

Abaddusi nga bavuganya mu mita 800 e Namboole. Ku dyo (220) ye Halima Nakaayi eyagiwangudde

Kwabadde kucacaanca mu baddusi abaakutte ebisaanyizo eby’etaagisa okugenda mu mizannyo gya Afrika era kati beesunga kukiikirira ggwanga.

Bino bye bimu ku byabadde e Namboole mu misinde gya National Truck and Field Championships ezaamaze ennaku bbiri nga zetabiddwamu abaddusi abasoba mu 300 nga bavuganyiza mu kiraabu zaabwe.

Shida Leni (Police) ye yasinze okwatiikirira bwe yamenye likodi z’eggwanga bbiri mu misinde gino nga yasookedde ku yiye eya mmita 400 gye yateekawo mu May eya sikonda 51:55 nga kati yaziddukidde 51:47. Yazzizzaako eya mmita 200 ebadde emaze emyaka 12 nga yateekebwawo Justine Bayiga mu 2007 mu Khartoum ekya Sudan. Bayiga yaddukira sikonda 23:46 sso nga Leni yaddukidde 23:43.

Emizannyo gya Afrika gyakubeerawo wakati wa August 19-31 mu kibuga  Rabat ekya Morocco.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...