TOP
  • Home
  • Rally
  • Munnakenya alabudde Bannayuganda

Munnakenya alabudde Bannayuganda

By Nicholas Kalyango

Added 29th July 2019

Manvir Baryan aweze okuwangula empaka za Pearl of Africa Rally omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa ayingire ebyafaayo ng'asoose okukikola.

Awardspoa6 703x422

Baryan (ku ddyo) ne Drew amusomera maapu lwe baawangula empaka za Pearl mu 2017.

Munnakenya Manvir Baryan aweze okuddamu okuliisa Bannayuganda enfuufu bwe banaaba basisinkanye mu mpaka za Pearl of Africa Uganda Rally wiikendi eno.

Baryan y’omu ku bu bagwira ababiri abagenda okwetaba mu mpaka zino ezigenda okubeera ez’ennaku ebbiri okuva ku Lwokutaano okutuuka ku Lwomukaaga ku buwanvu bwa kiromita 214.

Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa facebook, Baryan yagambye nti, “Omwaka oguwedde twawangula empaka za ‘Pearl’, n’omwaka guno tuli beetegefu okuzisitukiramu. Twagala kuwangula ngule ya Afrika mulungi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa era tuli beetegefu okulwana na buli omu.”

 anvir ngali mu koda Manvir ng'ali mu Skoda.

 

Baryan, avuga emmotoka ekika kya Skoda Fabia R5 ng’omwaka oguwedde yawangula oluvannyuma lw’okuvugira 2:26:03.5 ng’ayambibwako Omungereza Sturrock Drew ng’omusomi wa maapu.

Abavuzi 50, be baakakasiddwa okwetaba mu mpaka zino eziri ku kalenda ya Uganda (NRC) n’eya Afrika (ARC).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...