TOP

Abeebikonde beeyongeddemu ebbugumu

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2019

Ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde, The Bombers eyongedde okwekkiririzaamu bw'eweereddwa ebyokweyambisa nga yeetegekera emizannyo gya Africa

Bomberswebweb 703x422

Batantu (ku kkono)Fifi Fhiona ne Muhangi

Bya Fred Kisekka

TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde ‘The bombers’ yeeyongedde ebbugumu  bw’ekubiddwa enkata ya bukadde 20 zigiyambe okwongera okwetegekera emizannyo gya Afrika.

Ensimbi zino, zaweereddwaayo mu bintu eby’enjawulo omuli; giraavu, obukooti obuziyiza omuzannyi okukubwa eng’uumi na’funa obuvune mu kifuba, engatto, emijoozi, n’ebirala, nga byaweeredwaayo kkampuni ya BetOn.

Moses Muhangi pulezidenti wa UBF, ekibiina ekivunaanyizibwa ku muzannho guno mu ggwanga, yagambye nti obuyambi bwe baafunye bwongera okulaga nti ebikonde birina webituuse.

Fifi Phiona Namiiro, owa kkampuni eno, yagambye nti bakwongera okudduukirira ebikonde singa entalo zinnaggweramu ddala.

Abazannyi 25 be baali mu nkambi nga beetegekera emizannyo gya Afrika egigenda okuzannyibwa wakati wa August 6 ne13, mu kibuga Rabat ekya Morocco.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...