TOP

Lukaku alekeddwa bbali

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2019

Lukaku atawaanyizibwa obuvune wabula Inter Milan eyagala kumugula mu ManU.

Lukaku11 703x422

Lukaku

ROMELU Lukaku, alekeddwa bbali mu bazannyi ba ManU 26 abaagenze okuzannya omupiira gw’omukwano ne Kristiansund leero ku Lwokubiri.

Lukaku, abadde ne ManU mu Australia gye babadde nga beetegekera sizoni wabula teyazannyeeyo mupiira gwonna olw’obuvune kyokka ng’era Inter Milan emwefunyiridde okumugula.

Kigambibwa nti ManU yazira obukadde bwa pawundi 60, Inter Milan bwe yasooka okugiwa ng’eyagala okumugula.

Kati omutendesi Antonio Conte agamba nti Lukaku, y’omu ku bazannyi b’asinga okwagala mu Inter Milan era ManU yandibadde ekkiriza ne bakutula ddiiru.

Ku Lwomukaaga, ManU lw’ekomekkereza okuzannya emipiira gy’omukwano ng’ejja kuba ettunka ne AC Milan mu kibuga Cardiff.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana