Ronald Ssebuguzi ne Leon Ssenyange bawera kufuna bubonero mu mpaka za ‘Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally’ bagaziye ku njawulo y’obubonero eriwo wakati waabwe n’ababaddiridde ku ngule y’eggwanga (NRC).
Ssebuguzi y’akulembedde NRC n’obubonero 240 ng’asinga Hassan Alwi ali mu kyokubiri n’obubonero 60. Singa Ssebuguzi awangula empaka za ‘Pearl’ ezitandika ku Lwokutaano, ajja kuba atangaazizza emikisa gye egiwangula engule y’eggwanga omulundi ogwokuna.
“Emirundi ebiri, engule eyookuna ezze etuyita mu ngalo. Nzikiriza nti, ku luno omwaka gwaffe era tugenda kulwana tuwangule engule eyookuna. Obuwanguzi mu za ‘Pearl’ butuyamba era tujja kubukolerera,” Ssenyange, asomera Ssebuguzi maapu bwe yagambye.

Wadde ng’ekigendererwa ekisinga kya kukung’aanya bubonero obuwerako mu mpaka zino, Ssebuguzi era alwana kuddamu kumegga Bannayuganda nga bwe gwali omwaka oguwedde.
“Buli muvuzi ayagala kuwangula empaka nga zino. Okumalira mu kyokubiri emabega wa Munnakenya (Manvir Baryan) omwaka oguwedde kyatusanyusa era twagala kukola tukisingeko omwaka guno. Ekirungi amakubo tegaawukanye nnyo ku ge twakozesa omwaka oguwedde.”
Bano bajja mu mpaka zino nga baakayiikamu kavvu wa bukadde 65 okuva mu kkampuni ya Vivo Energy Uganda. Empaka za ‘Pearl’ zaakutandikira Busiika ku Lwokutaano abavuzi 50 gye bagenda okuvuganyiza ku lugendo lw’obuwanvu bwa kiromita 4.36, enkeera bagende e Kayunga gye bagenda okuvuganyiza mu nkontana (sections) 4 eziriko obuwanvu bwa kiromita 210.