TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kiberenge ne Kawanda bagudde mu kawunyemu w'omuzannyo gwa Ludo

Kiberenge ne Kawanda bagudde mu kawunyemu w'omuzannyo gwa Ludo

By Gerald Kikulwe

Added 30th July 2019

AB’OMUZANNYO gwa Ludo e Kawempe batunudde ebikalu ssentebe waabwe bw’akoze ekikwekweto ky’okufuuza abazannya zzaala n’akwata kiraabu bbiri era nezigobwa mu liigi 1 okutuusa sizoni ejja.

Panda 703x422

Hussein Kityo ku ddyo, Simon Kawuki ku kkono n'emmeeza ze baakutte ezizannyirwako zzaala

Hussein Kityo ssentebe w’omuzannyo gwa Ludo mu disitulikiti y’e Kawempe wamu ne ssaabawandiisi Simon Kawuki oluvannyuma lw’ekikwekweto kino baategeezezza ng’omuzannyo bwe guzzeemu abafere abaleese zzaala okwagala okwekkusa nga kati obudde bwonna,basiiba mu bumenyi bw’amateek wa ekitattanye omuzannyo.

“Ludo twagala akule mu ggwanga, naye kiraabu ze tuwandiika ate ziva ku mateeka agafuga omuzannyo, leero tukutte kiraabu bbiri okuli;Kyebando Kiberenge ne Kawanda Ludo Club, bano tubasanze bazannyisa ddayisi bbiri ku mmeeza mu nkola eya zzaala era tubaggyeeko emmeeza zaabwe ne tubawera mu liigi 1 mwe babadde bazannyira okutuusa nga beeterezezza,” Kityo bwe yategeezezza.

Samie Wamala omu kubakulira Kiraabu ya Mpererwe Special Ludo Club yategeezezza nti kiraabu oluusi ziwalirizibwa okuzannya zzaala ku mmeeza za Ludo olw’okunoonya ssente eziziyimirizaawo naddala okupangisa ebifo we bazannyira kuba tebalina bavuggirizi, “tuba tweyiiya okulaba engeri gye tubaawo, tusaba kisonyiwo.”

Simon Kawuki  Ssaabawandiisi w’omuzannyo gwa Ludo mu Kawempa agamba nti buli kiraabu bw’ezannya zzaala emenya etteeka A.(vi) ku mateeka agafuga Ludo era ssinga Kiraabu ekwatibwa ewerebwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.