TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Bayise mu Evra asikirize Dybala yeegatte ku ManU

Bayise mu Evra asikirize Dybala yeegatte ku ManU

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2019

ManU eyagala egule Dybala olwo ereke Pogba agende mu Juventus

Dybala1 703x422

Dybala

NG'AKATALE k'abazannyi mu Bulaaya kabuzaako ennaku ntono kaggalwewo, buli ttiimu eri mu kusala amagezi okulaba ng'efuna omuzannyi gw'eyagala.

ManU erudde ng'eperereza Paulo Dybala okumuggya mu Juventus.

Yasooka n'essaawo obukadde bwa pawundi 80 emugule wabula kati kigambibwa nti eyagala eweeyo Paul Pogba ate nga yo Juventus ebawaddemu Paulo Dybala.

Ensonda endala zitegeezezza nti ManU eyagadde Paulo Dybala n'ekatagga nga kati etandise kukozesa Patrice Evra aperereze Dybala akkirize okuzannyira ManU.

 ybala ne vra Dybala ne Evra

 

Evra, eyazannyirako ManU yawummudde okusamba omupiira era baamugambye aperereze Dybala nti kuba ye (Evra) amanyi ebirungi bingi ebiri mu ttiimu eno ebisobola okusikiriza abazannyi.

Wabula bw'aba waakwegatta ku ManU, Dybala waakusuvwa okuzannya Champions League kuba ManU, mu Premier sizoni ewedde yamalira mu kifo kyamukaaga ekitazannya Champions League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana